BOBI Wine (Robert Kyagulanyi) yeepenye olukiiko lw'akakiiko k'ebyokulonda nga Ssentebe waako Omulamuzi Simon Byabakama bwe yamulagidde okweyanjula olwaleero ku ssaawa 4:00.
Agavaayo galaga nti Bobi Wine asindiseeyo ttiimu ekulembeddwa Omumyuka we Mathias Mpuuga atwala ebitundu bya Buganda, Bannamateeka Medard Lebega Sseggona, Benjamin Katana, Flavia Nabagabe Kalule n'abalala.
Byabakama yawandiise wiiki ewedde ng'alagira Kyagulanyi owa NUP ne Patrick Amuriat Oboi owa FDC okweyanjula olwaleero kyokka tebalabiseeko Bobi n'asindikayo abamukiikirira ate Amuriat talina gw'asindise era ye ali mu kunoonya kalulu mu bitundu bya Karenga, Kaabong ne Abim.
Ekiseera kino Bobi Wine baatumye okumukiikirira bakyalinzeeko okusisinkana Ssentebe w'akakiiko.