"Teri musawo asinga Katonda! Y'asoboola yekka okumalawo ekirwadde kya COVID-19 ekitadde ensi ku bunkenke nga kyakyusa buli kintu ekiviiriddeko abamu okuggwaamu essuubi naye Katonda y'alina obusoboozi okukinafuyizza ddala ensi n'edda mu nteeko," Kiganda bw'ategeezezza.
Kiganda bino abitegeezezza Bukedde ng'alaga enteekateeka y'okumalako omwaka nga 31 n'agamba nti ku mulundi guno tebagenda mu kisaawe kya Old Kampala nga bwe gubadde emyaka egiyise olw'ekirwadde kya COVID-19 wabula bagenda kusiiba ku kkanisa ya Christianity Focus Centre nga beegayirira Katonda.
Agasseeko nti ku ssaawa 2:00 ez'ekiro abantu bagenda kuddaayo ewaabwe nga byonna ebinaaba bigenda mu maaso okubayingizza omwaka bigenda kuba biragirwa butereevu ku Kingdom Tv ne Radio.
"Abantu tugenda kukkirizza batono okubeera ku kkanisa emisana ng'ebigenda mu maaso byonna tusaba abantu basigale mu maka gaabwe olw'okutangira ekirwadde kya COVID-19," Kiganda bwe yategeezezza.