
Poliisi ekubye omukka ogubalagala n'amasasi mu bawagizi ba Robert Kyagulanyi nga bagezaako okumutangira okugenda e Lwengo.
Mu kanyolagano kano mwe bakubidde ne Ashraf Kasirye munnamawulire wa Bobi Wine amasasi, Ali Mivule owa NTV ne Daniel Lutaaya owa NBS nabo balumiziddwa.