WADDE ab'e Sheema obwedda babakubamu ttiyaggaasi okubagumbulula n'okubalemesa okutuuka awali omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine avuganya ku bwapulezidenti, kino tekyabalemesezza kusaliinkiriza okutuuka waali.
Yabasabye bamulonde kubanga eggwanga we lituuse lyetaagamu omusaayi omupya okulizza engulu. Yategeezezza nti ebimu ku by'ayagala okukolako bw'ebuli bwenguzi obukudde ejjembe mu Uganda.
Yabadde ne mukyala we Barbra Itungo wamu ne Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya. Ebif. Bya Moses Nsubuga.