MUNNAMAWULIRE wa Bukedde Tv, Innocent Tegusulwa akulembeddemu banne mu kibiina kya NUP okuwenja akalulu ku bwakansala mu miruka gy'e Luzira, Butabika n'e Mutungo n'asuubiza okusitula erinnya ly'ebitundu bino.
Tegusulwa yeesimbyewo ku bwa loodi kansala Nakawa 11. Abadde n'abaagala obwa kansala mu bitundu ebyenjawulo ku kkaadi ya NUP okuli Faizal Ssebayiga Nakawa 111 (Mutungo).,Winnie Nansubuga loodi kansala omukyala owa Nakawa East D, Agnes Andiinda kansala omukyala owa Butabika, Ibrahim Wandera Kansala w'e Biina, Ibrahim Nsereko kansala Butabika 2 ne Yusuf Bbaale Kansala Butabika 1.
Abantu abo nga bali wamu n'abawagizi baabwe beetoolode omuluka gwa Butabika nga bagenda baperereza abawagizi baabwe okubawa obululu ng'eno bwe babazinira akadodi.
Tegusulwa yagambye nti agenda kugatta abantu mu bitundu ebyo okulaba ng'abatuuze mu bitundu ebyo tebasengulwa nga bwe kibadde mu biseera by'emabega wamu n'okuteekawo omwenkanonkano mu batuuze nga tewali atwalibwa nga wa njawulo ku balala.
Nansubuga agamba nti mu Butabika babadde bayita mu kusoomoozebwa okwenjawulo nga tebafiibwako naddala ku nsonga y'emyala egibadde gibatawaanya olw'abakulembeze be babadde nabo okwefaako bokka.