Saturday, December 19, 2020

Museveni atalaaze Bunyoro n'asuubiza enkulaakulana

Museveni atalaaze Bunyoro n'asuubiza enkulaakulana





Ekibuga kye Hoima kye kimu ku bibuga ebyasuumuusibwa okutuuka ku City gye buvuddeko era nga Gavumenti eriko ebintu ebirabika by'ekoze mu kitundu.

Amakubo mangi agakoleddwa mu kibuga okuli; Rukurato Road, Main Street, Old Tooro Road, Coronation Road, Persy Road, Gavernment Road ne Kabalega Road nga gonna gaweza obuwanvu bwa kkiromita 2.732. Ekibangirizi kya Boma Grounds kyayooyooteddwa bulungi era kirabisa bulungi ekibuga.

Olw'okuba ng'amafuta gasimwa mu kitundu ky'e Bunyoro, Gavumenti efubye okulaba ng'ekola amakubo ga mwasanjala mu bitundu by'e Bunyoro era entambula yalongooka nnyo.

Yasookedde Kibaale ne Bundibugyo gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM n'abantu abeesimbyewo ku kaadi ya NRM ku Lwokutaano.

Museveni yayanukude okusaba kw'abantu b'e Bundibugyo bwe yabasuubizza okubazimbira olutindo olugatta Uganda ne Congo awamu n'okwongera okuzimba enguudo ezituuka ku nsalo ya Congo okusobola okwongera okutumbula eby'obusuubuzi mu mawanga gombi.

Olutindo lwakuzimbibwa ku mugga Semuliki. E Bundibugyo pulezidenti yayaniriziddwa mu maanyi abawagizi be abaabadde bakwatiridde ku makubo emabbali. Pulezidenti yategeezezza ab'e Bundibugyo nti ekivaako ebimu ku bisuubizo by'abra yeeyama okukolera abantu obutateekebwa mu nkola mangu, bwe bunafu bw'abakulembeze abatafaayo kulaba nga biteekebwa mu nkola.

Yasuubizza okuzimbira abantu b'omu kitundu kino ekkolero eryongera omutindo ku kirime kya Cocoa gwe balima mu bungi okulaba ng'abalimi baganyulwa mu ntuuyo zaabwe wamu n'okuzimba obutale ku nsalo ya Uganda ne Congo.

Abantu b'e Bughendere yabakakasizza nga bwe bagenda okufuna disitulikiti eyeetongodde egenda okukutulwa ku y'e Bundibugyo. Kyokka yabalabudde okwewala obutayingira mu nsalo ya Uganda ne Congo kuba kisobola okuleeta obuzibu.

Agenda kuliyirira n'abaakosebwa amataba olw'okubooga kw'ennyanja Albert. Anne Mary Tumwine (mukazi Ntoroko) yeebazizza Pulezidenti olw'okubatuusaako amazzi amayonjo bwe yabazimbira ebbibiro erya Karugutu - Kanaara Irrigation Scheme kw'otadde n'okwongera okubazimbira amasomero ga bonnabasoma.

Tumwine era yasiimye pulezidenti olw'enjiri ey'okulwanyisa enjawukana mu mawanga n'agamba nti kuno kwali kusoomoozebwa kwa maanyi mu kitundu kyabwe wakati wa Bakonjo na Bamba naye kati bakolagana.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Bundibugyo, Ronald Mutegeki yagambye nti ekigenda okusinga okuweesa pulezidenti Museveni obululu mu kitundu kino bwe butebenkevu bwe yaleeta mu ggwanga oluvannyuma lw'okuwangula abayeekera ba ADF abaali bamazeeko abantu b'omu kitundu kino emirembe.

Amasannyalaze gasaasaanyiziddwa mu bitundu ebisinga obungi e Bundibugyo so nga n'oluguudo oluva e Fortportal okutuuka e Bundibugyo ne Ntoroko nalwo bagamba luyambye kinene okwongera okututumula enkulaakulana mu bitundu.

Minisita omubeezi ow'obutebenkevu, Christopher Kibazanga yategeezezza pulezidenti nti waakuwangulira waggulu mu kitundu kino naye yeetaaga okutuukiriza ekisuubizo ky'okuwa abantu b'e Bughendera disitulikiti kuba kino yakikola mu kampeyini za 2016 naye tekinnatuukirira.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts