MU bantu abakungubagidde Sheikh Muzaata mwe muli ne be yagugulana nabo era bonna okufa kwe kwabakubye wala. Muzaata abadde ayogerwako ng'abadde tasiba busungu era nga bw'amala okwogera ekimuli ku mutima nga takaluubirirwa kutabagana na muntu oyo gw'aba ayogeddeko.
Kumpi abantu bonna Muzaata be yagugulana nabo, agenze okufa nga batabaganye era bangi baaweerezza obubaka obumukungubagira ne basaasira ffamire, obukulembeze bw'Obusiraamu e Kibuli n'eggwanga lyonna okutwaliza awamu.
JENNIFER MUSISI (eyali Dayirekita wa KCCA) Tunyoleddwa nnyo olw'okufa kwa Sheikh Muzaata. Abadde musomesa ow'amaanyi era ng'abudaabuda abantu mu ngeri ennungi. Abadde ayogera ky'alowooza nga taliimu kwetiiririra era ddala ng'afuba okutumbula obulamu n'enkulaakulana mu bantu.
Musisi ng'akyakulira KCCA yawa ekiragiro ng'ayagala okuyimiriza emizindaalo ku mizikiti egiri mu Kampala nti givaamu amaloboozi agaleekaanira waggulu mu kiseera nga baaziina n'okusaala. Muzaata yamwambalira nti, "Jenniffer Musisi twagala okukulabula nga Abasiraamu toddamu okwagala okuyiga okwogera ng'oyigira ku Busiraamu.
Akasanke kakulemye okumaanya ate weewanika ku ng'aaga, aba bodaboda bakulemye okuwandiisa ate weerippa ku Busiraamu. Jennifer wajja mu kibuga kino n'amaalo mangi ng'olowooza nti gwe ogenda okutereeza buli kimu…." Oluvannyuma ensonga baazigonjoola era Musisi ekifaananyi kye yatadde ku mukutu gwa Twitter nga kiraga ng'ali ne Muzaata n'Abasiraamu abalala nga bava mu lukiiko.
Nga bwe bagamba nti omukwano guva mu ngabo, olwali olutalo lwavaamu enkolagana ennungi wakati wa Muzaata ne Musisi era enkolagana eno yeeyongera nga Kuruthum Nabunya, mukyala wa Muzaata atandise okukola mu KCCA ku mulembe gwe (Musisi). Emikolo gy'Obusiraamu Jennifer gye yategekanga ku KCCA ng'egy'okugabula ebintu bya Iddi, nga Muzaata tatera kubulawo.
EDDY KENZO Mu bubaka Edirisa Musuuza (Eddie Kenzo) bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook ng'akungubagira Muzaata yagambye nti: Kitalo ekya Sheikh Nuhu Muzaata. Nsaba Ya Allah agumye family na buli Munnayuganda. Nneebaza Allah eyansobozesa okusisinkana ne Muzaata ne tumalawo ebyaliwo.
Munnange wummula mirembe Sheikh okutuusa lwe tuliddamu okusisinkana. lMu 2018, Rema Namakula yasuulawo Kenzo n'asalawo okufumbirwa Hamza Ssebunya mu 2019. Ebigambo bingi ebyayogerwa wabula Muzaata bwe yatuuka okwongera n'ategeeza nti; Rema tukukulisa kulika bu ‘Love Nniga' bussemyekozo obwo tebuwasa, obeera oli awo nga kalogojjana mbu omusajja olina okuwasa omukazi ng'alinga maama wo…….genda owase nnyoko!
Ekigambo ekyo kyanyiiza Kenzo n'agamba nti kwali kumuvuma magufa kubanga nnyina yafa dda. Abawagizi ba Kenzo bangi baalumba Muzaata okujolonga Kenzo. Muzaata bwe yatuuka ku mukolo gw'okwanjula kwa Rema e Nabbingo n'ategeeza nti azze alwana entalo ennene ze yayita ssematalo era ako aka Kenzo akalaba ng'okwekalakaasa kwa "walk to work" okutayinza kumulema.
Oluvannyuma Kenzo ne Muzaata baasisinkana ne batabagana, Kenzo n'ategeeza nti kati bakwatagana bulungi era yagenze okufa nga tewali buzibu bwonna wakati waabwe.
Mu balala abaagugulanako ne Muzaata kuliko ne Mmengo, bwe yalumba enteekateeka y'okusonda Ettoffaali, eyali ewomeddwaamu omutwe, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga. Oluvannyuma waaliwo okutabagana era Muzaata n'asiima Katikkiro olw'obukulembeze bwe bwe yayogerako ng'obwenjawulo ku Bakatikkiro abaamusookawo.
Katikkiro Mayiga y'omu ku baaweerezza obubaka obukungubagira Muzaata n'ategeeza nti eggwanga lifiiriddwa nnyo, n'asaasira ffamire ye, obukulembeze e Kibuli n'eggwanga lyonna.
MUBARACK MUNYAGWA (Omubaka wa Kawempe South) Mu bubaka bwe Munyagwa yagambye nti: Sheikh Muzaata abadde musajja ateerya ntama ku nsonga z'Obusiraamu era nga taluma mu kigambo. Ekituufu kiri nti y'abadde Empologoma y'Obusiraamu ebadde esigaddewo.
Tusaasira nnyo Jjajja Omulangira Kassim Nakibinge kubanga Sheikh Muzaata abadde musajja we atazzikawo. Sheikh Muzaata abadde musajja mugumu nnyo nga bw'oteesiba bbiri tomwang'anga. Ensonga ezaaliwo zibadde zaasirikamu naye nze mbadde nnamusonyiwa. Tusaba Katonda amusaasire ebyamusobako.
Mu July 2014, Muzaata yakoma wala ne Munyagwa ng'akyali Meeya wa Kawempe olw'edduwa eya kaamulali Munyagwa gye yasomera Gavumenti ya Pulezidenti Museveni egwe olwa kye yayita okunyigiriza Bannayuganda. Muzaata yalumba Munyagwa nti akomye okuzannyira mu Busiraamu ng'akola katemba w'okulomba edduwa za kaamulali n'agattako nti abantu b'e Kawempe baamenyekera bwereere okulonda ‘evvubuka eryo'.
Muzaata mu bigambo bye yayogera nga tasalikako musale yagamba nti, "Mulekere awo okuzannyira ku Busiraamu; waliwo ekivubuka kino e Kawempe, twakironda nga tukiraba ng'ekisajja ekintukiramu, kati kiri mu kuzannya buzannyi katemba era nagambye oyo omuvubuka mukwano gwange Amooti Omubalanguzi hhenda kumuwa ssente akinnyingirize mu Amarura."
Wabula yalinga akubye ejjinja mu njuki era Munyagwa ky'ataamulangira nga tekiriiyo. Olutalo lwabwe lwanyinyittira era kigambibwa nti abakulembeze mu Busiraamu be baamala okuyingira mu nsonga ne babakomako bombi era okuwaanyisiganya ebigambo ne kukendeera.
LOODI MEEYA ERIAS LUKWAGO Waliwo lwe yagugulanako ne Loodi Meeya Erias Lukwago nti si ye Musiraamu yekka ali mu Kampala, bw'aba nga bamugobye ku bwa Loodi Meeya, Abasiraamu tebasaanye kwekubagiza, basobola okulonda Omusiraamu omulala.
Obutakkaanya bwa Muzaata ne Lukwago bwasibuka ku kusika omuguwa wakati wa Lukwago n'ekibiina kya UTODA ekyali kikulirwa Haji Musa Katongole okutuusa Lukwago lwe yabasuuza ttenda ey'okuddukanya entambula za ttakisi mu Kampala mu 2012, ekintu ekyanyiiza Muzaata n'agamba nti teyandibadde Erias okulemesa Musa.
Kyokka oluvannyuma baddamu okukwatagana obulungi. Ku Lwomukaaga, Lukwago yasinzidde Nairobi nga tannaba kukomawo mu Uganda n'aweereza obubaka obukungubagira Muzaata. Yagambye nti: Amawulire ag'ennaku ag'okufa kwa Sheikh Muzaata gantuuseeko nga ndi ku kitanda mu ddwaaliro era kinkubye wala. " Ennyiike n'ekiyo-ngobero binzita bannange. Allah amusonyiwe byonna.
OLUTALO LWE N'ABAKULEMBEZE B'OBUSIRAAMU E KAMPALAMUKADDE Sheikh Muzaata yasooka kucaaka bwe yalumbanga Mufti Shaban Ramadhan Mubajje, Hassan Basajjabalaba n'obukulembeze bw'e Kampalamukadde ng'akibassaako nti baatunda emmaali y'Obusiraamu. Muzaata ng'ali ne Sheikh Jjemba baatwala Mubajje mu kkooti nga bamuvunaana okutunda ebintu by'Obusiraamu.
Olumu yakulemberamu Abasiraamu okulumba e Kampalamukadde bawambe, poliisi n'ebakuba ttiyaggaasi ne bayita mu myala. Atuuse okufa nga tebatabaganye ne Mubajje era nga buli lw'amwogerako ayogera bisongovu.
Wabula eyali omwogezi wa Kampalamukadde era eyayanukulanga ennyo Muzaata, yamukungubagidde n'agamba nti bafiiriddwa omuntu abadde ayogera ekimuli ku mutima nga teyeekwekeredde muntu era bagenda kumusubwa nnyo naddala mu kaweefube w'okulaba ng'Abasiraamu balowoozebwako mu bifo eby'enkizo mu Gavumenti.