AKULIRA akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g'obwapulezidenti Lt. Col. Edith Nakalema asabye abantu okumuloopera abakozi ba gavumenti bonna abeenyigira mu kulya enguzi.
Nakalema yabadde ku mukolo ogwategekeddwa ebibiina by'obwannakyewa ebirwanyisa enguzi ogwatuumiddwa Anti-Corruption Convetion 2020 n'agamba nti ofiisi ye tesosola mu kika kya bantu nga bakola emirimu gy'okulwanyisa enguzi.
Okwogera bino yabadde addamu okwemugulunya kwe yafuna ng'abantu bagamba nti abamu ku banene n'abakungu ba NRM abeenyigira mu kulya enguzi akakiiko kano tekabakwatako wabula Nakalema agambye nti bonna be bamuloopera mu ofiisi ye abanoonyerezaako era abaliko obujulizi batwalibwa mu kkooti.
Yagambye nti emirundi mingi gy'akoze okunoonyereza ku bakungu mu gavumenti ng'abasinga be bamu ku be bayita abanene naye yabakwata oluvannyuma lw'okufuna obujulizi era bangi baasimbibwa mu kkooti n'abamu ne basulako mu kkomera.
Yayongedde n'asaba abantu okumuloopera bonna abagenda ne bafera nga beeyita abakozi mu maka g'obwapulezidenti olwo ne babba abantu mu ngeri ez'enjawulo naddala nga babasaba ssente ku nsonga ez'enjawulo.
Yagambye nti ne bw'aba mukozi mu kakiiko bamumubuulire, n'awera nti ssinga afunayo omu ku b'akola nabo oyo waakukwatirwawo aggalirwe.
Olukung'aana luno lwategekeddwa ebibiina ebirwanyisa enguzi okuli ekya Action Aid, Anti-corruption Coalition Uganda, Transparency International n'ebirala era ababikulira ne basaba abantu okwenyigira mu kulwanyisa enguzi.
Source