Wednesday, December 16, 2020

Omulamuzi Rugadya alayiziddwa okukulira akakiiko ka Immigration Board

Omulamuzi Rugadya alayiziddwa okukulira akakiiko ka Immigration Board

OMULAMUZI Rugadya Atwoki alayiziddwa okukulira akakiiko akakola ku bantu abayingira n'okufuluma eggwanga aka Immigrations Board.

Rugadya yali mulamuzi wa kkooti enkulu n'awummula yalayiziddwa okudda mu bigere bya Mariam Amoit abadde akulira akakiiko kyokka nga kati agenda kusigalako nga mmemba.

Ono yalayiziddwa ne Dr. Sarah Wasagali Kanaabi nga mmemba ku kakiiko. Omukolo gubadde ku kkooti enkulu mu Kampala nga gukulembeddwa omulamuzi Emmanuel Baguma eyakiikiridde Ssaabalamuzi  Owiny-Dollo.

Bw'abadde abalayiza, omulamuzi Baguma abasabye okukola emirimu gyabwe nga beewala enguzi ssaako okuweereza abantu wakati mu bwesimbu n'obuntubulamu .

Baguma era abasabye okwewala okulya enguzi n'okugirwanyisa kubanga nnyingi mu bitongole omuli na kino kye balayiziddwa okukoleramu.

Ku mukolo era abakulira akakiiko ka Healthy Service Commision musanvu nabo balayiziddwa. Bano kuliko: Dr. Pius Okong nga ssentebe, amyukibwa Christine Mwebesa n'abalala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts