Tuesday, December 1, 2020

Poliisi ekubye ttiyaggaasi mu ssomero. Abayizi 30 bazirise, 17 bali ku bitanda

Poliisi ekubye ttiyaggaasi mu ssomero. Abayizi 30 bazirise, 17 bali ku bitanda

Waabaddewo akasattiro ku ssomero lya Mpoma Girls School erisangibwa e Mpoma mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono poliisi eyabadde egumbulula abagoberezi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu avuganya ku bwa pulezidenti bwe yakubye omukka ogubalagala okumpi n'essomero lino okukkakkana ng'akakebe kagudde munda mu ssomero.

Okusinziira ku mukulu w'essomero lino; Christopher Bwire, abayizi abaabadde bayingidde mu kibiina okusoma 1:00 ay'akawungeezi baagumbuluddwa omukka ogubalagala n'amasasi agaabadde gavuga ebweru mu luguudo. Abayizi abaakosseddwa kuliko abasoma S.4 ne S.6.

Bwire ategeezezza nti abayizi nga 70 be baayisiddwa obubi olw'embeera eno wabula abayizi nga 30 ate embeera yaabwe ey'obulamu n'ebeera bubi nnyo n'abasinga ne bazirika n'okulemererwa okussa.

Agambye nti ku bayizi 300 abaabadde obubi, abamu baaweereddwa obujjanjabi ku ssomero ne baweweera ate 17 ne babaddusa mu ddwaaliro lya Mukono Church of Uganda gye baawereddwa ebitanda ekiro ekyo.

Sandra Misanya, Omu Ku Bayizi Ng'ali Ku Kitanda Mu Ddwaliro.

Omusikale Wa Poliisi Ng'agenda Ng'ayogerako N'omu Ku Bayizi Abaakubiddwa Ttiyaggaasi.

Christopher Bwire, Omukulu W'essomero Lya Mpoma Girls.

Omusawo Ng'awa Obujjanjabi Omu Ku Bayizi Abaakoseddwa Omukka Ogubalagala Poliisi Gwe Yakubye Mu Ssomero Lyabwe.

We tutuukidde mu ddwaaliro enkya ya leero ng'abamu ku bayizi bagenze badda engulu ng'era Bwire agambye nti basuubira nti essaawa yonna bajja kuba babasiibula baddeyo ku ssomero bagende mu maaso n'emisomo gyabwe.

Omwogezi wa poliisi atwala ettundutundu lya Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango akakasizza nga ddala poliisi bwe yakubye omukka ogubalagala mu kitundu kino wabula nga teyagenderedde kugukuba mu bayizi.

Ku Mmande akawungeezi, poliisi yeezoobye n'abawagizi ba Kyagulanyi abaabadde bakungaanye mu bungi okuviira ddala wakati mu kibuga ky'e Mukono n'etuuka n'okumulemesa okukuba olukungaana okumpi n'awaka w'omubaka wa Mukono mu palamenti Betty Nambooze Bakireke bw'etyo n'egenda ng'ebawereekereza omukka ogubalagala.





Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts