Monday, December 14, 2020

Poliisi eri ku muyiggo gw'abazadde abasse omwana

Poliisi eri ku muyiggo gw'abazadde abasse omwana

POLIISI eri ku muyiggo gwa bannansi ba Somalia abagambibwa okutta omwana waabwe omulambo ne bagusibira mu nnyumba ne badduka. 

Abaserikale nga beetegereza omulambo gw'omwana.

Entiisa eno egudde mu zooni ya Spire mu muluka gwa Ndeeba,  mu munisipaali y'e Lubaga. Omugenzi yategeerekeseeko erya Saudah 14 abadde muwala  wa Jazimin Muhammad ng'ono y'ali mu kunoonyezebwa ne muganda we, Fatumah Muhammad. 

Kigambibwa nti, bano olwamaze okukola ettemu lino, omulambo baagusindise mu kitanda mu kisenge ky'abaana ne basibawo ennyumba ne babulawo. 

Omulambo gw'abaddeko enkwagulo ku mutwe ne mu kifuba ate nga ku bbali waliwo amakerenda  nga n'ebintu mu nnyumba yonna bitinkuddwa. 

Abaserikale n'abatuuze nga batuuka awaka we battidde omwana. (Ebif. Ponsiano Nsimbi).

Baliraanwa ba Jazmine nga nabo bannansi ba Somalia, baategeezezza poliisi nga bannaabwe abo bwe babadde basusse okutulugunya omugenzi nga ne ku Ssande lwe baamusse baasoose kwagala kumukuba misana, kyokka ne wabaawo munnaabwe  eyabalemesezza n'atiisa okubaloopa ku poliisi. 

Bwe bwazibye ekiro ne batumbula leediyo nneewoggana nnyo ng'abali wabweru tebasobola kuwulira kigenda maaso, nga kirabika we baakoledde ettemu lino. Abaserikale okuva ku poliisi y'omu Ndeeba nga bali wamu ne bambega okuva ku poliisi y'e Katwe,  beekebezze  omulambo ne bagujjawo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okuzuula ekituufu. 

Poliisi egguddewo omusango ku fayiro SD:17/14/12/2020 nga bwe bayigga abooluganda bano babitebye. Ssentebe w'ekitundu,  Ibrahim Nsubuga ategeezezza nti, Abasumali bangi mu kitundu ,  kyokka abasinga obungi tebamanyiddwa ate nga buli lukya beeyongera, ekintu eky'obulabe. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Oweyesigyire akakasizza ettemu lino, n'agamba nti poliisi etandise omuyiggo okulaba ng'abooluganda bano bakwatibwa bavunaanibwe. 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts