SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mwenyamivu olw'abantu abalagajjalidde ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (Covid-19), n'asasaanira abalala.
Bino Dr.Lwanga yabyogeredde Lubaga ku Ssande ku mukolo gw'ennyimba z'amazaalibwa ogwatagekeddwa kkwaaya ya St.Cecilia okujjukira obuweereza bw'omugagga Framcis Xavier Kitaka omutandisi wa kkampuni ekola eddagala ly'ebisolo n'ebirime eya MTK Uganda Ltd eyafa ekirwadde kya Covid-19 mu September w'omwaka guno.
Yategeezezza nti afuna amawulire nti waliwo abantu ab'amanya abalina ssenyiga omukambwe ne bateekuuma kimala ekivaako abalala okukwatibwa ssennyiga ono. Yagambye nti bano kye bakola kikyamu era bamenya ekiragiro kya Katonda eky'okutaano ‘'Tottanga''.
Yakubirizza Bannayuganda okugoberera ebiragiro ebyatekebwawo minisitule y'eby'obulamu omuli: okwambala masiki, okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni, okulya ebibala n'ebivaavaava ebiyamba okwongera amaanyi mu mibiri gyabwe okusobola okulwanyisa endwadde.
Yasiimye emirimu emirungi Omukama gye yakozesa omugenzi n'asaba aba famire ye okugitwala mu maaso naddala omulimu gw'okuwagira emirimu gy'Eklezia.
Fionah Migadde ku lwa famiire y'omugenzi Kitaka yategeezezza nti kitaabwe yalina akakwate kanene ku Lutikko y'e Lubaga kubanga mwe yabatirizibwa ne yeeyama okusigala nga bawagira Eklezia nga kitaabwe bwe yakolanga .
Justine Kizza ssentebe wa kkwaaya ya St.Cecilia yategeezezza nti omugenzi Kitaka yali omu ku bantu abasinga okubawagira kyokka olw'okuba tebaafuna mukisa gumuwerekera bulungi olw'embeera y'obulwadde kwe kusalawo okumujjukira.