Monday, December 14, 2020

'Teri kugenda mu byalo ku Ssekukkulu'

'Teri kugenda mu byalo ku Ssekukkulu'

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda okwewala okutambula okugenda mu byalo mu nnaku ez'eggandaalo, bazikozese okugenda mu malwaliro okwekebeza okumanya obulamu bwabwe bwe buyimiridde ku ndwadde ez'enjawulo.

Minisita ‘ebyamawulire Judith Nabakooba mu kiwandiiko ky'afulumizza alabudde abantu nti abasawo bawabula buli muntu asigale waali.

Agamba nti kino bakikola okutaasa abantu bebagenda okusisinkana mu byalo kubanga ekirwadde kya Corona kyabulabe nnyo mu mubiri gw'omuntu agenderedde mu myaka.

"Ekiseera kino omuwendo gw'abakakwatibwa Corona mu Uganda baweze  27,071 n'abafudde baweze 220 kyokka omuwendo gulinnya buli olukya" Nabakooba bw'alabudde.

Engeri esinga obulungi kati omuntu gy'asobola okujaguzaamu ennaku enkulu, kwekusigala ewuwe n'agoberera ebiragiro byonna ebyateekebwawo okulwanyisa Corona.

Nabakooza ategeezezza nti abakugu bawabula abakadde abali mu byalo bakosebwa nnyo obulwadde era kyangu okubatta.

Weewale okugenda mu byalo okubatwalira obulwadde oba ggwe okubuggya eyo gy'olaze okubuleetera abalala bewalese mu makaago.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts