BAKATEEYAMBA b'e Nalukolongo n'ababiikira ababalalabirira basembezeddwa ku kijjulo ky'ennaku enkulu era ne batonerwa n'ebintu ebikalu.
Ekijjulo kyabagabuddwa aba Lotale y'e Lubaga mu kifo kyabwe ekya Mapeera Bakateyamba's Home e Nalukolongo. Farouk Busuulwa, pulezidenti wa Rubaga Rotary Club yagambye nti giweze emyaka 34 okuva 1986 nga basembezza abakadde abali mu kifo kino.
Sr. Lawrence Nakiwu akulira ekifo kino yagambye nti kati baweza abakadde 75 abalabirirwa kyokka nga ekifo kyonna awamu kirimu abantu 125. Yagambye nti batandise n'okufuna abakadde okuva e Kenya, South Sudan, Tanzania, Congo n'awalala.