SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa ku bifo by'obubaka bwa palamenti obutadda mu kwesongamu nnwe wabula bafube okukebera ensobi ezaabalemezza obuwanguzi.
Kazimba yasinzidde mu maka ge mu kusaba kwa Ssande n'ategeeza nti obukulembeze bwonna buva eri Katonda nga tewali nsonga lwaki abaawanguddwa bateekawo embeera y'okwekubagiza n'okulumiriza abalala okubalemesa obuwanguzi.
"Nsaba mwenna abataasobodde kuwangula obutaggwaamu ssuubi wabula mufube okwekebera ensobi ze mwakoze mu kiseera ky'okunoonya akalulu n'ekisanja ekiwedde muzitereeze bwe munaaba baakukomawo okwesimbawo mu 2026," Kazimba
bwe yategeezezza.
Yasabye bonna abaawanguddwa mu kalulu obutateekawo mbeera ya kutabangula ggwanga wabula bagende mu kkooti oba okwesiga omulamuzi omukulu Katonda kuba buli bukulembeze buva wuwe.
Ssabalabirizi Kazimba era yasabye abaawanguddwa obuteekwasa bannaddiini kuba omulimu gwabwe gwa kulyowa myoyo si kuba na ludda mu byabufuzi.
Yagambye nti munnaddiini alina kutabaganya bantu si kulaga ludda kw'abo abeesimbyewo.
Kiddiridde minisita omubeezi ow'ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, ng'asinziira ku Grenkhad Gardens e Nansana okutegeeza nti bannaddiini be baavuddeko NRM okusuula obuwanguzi ku bifo by'obubaka bwa palamenti mu kitundu kya Buganda.
Yagambye nti Fr. Anthony Musaala yasinziira mu klezia n'ategeeza abantu nga bwe balina okulonda NUP, kye yagambye nti tekisaana kuva mu kamwa ka munnaddiini.
"Fr Musaala yayimirira mu Klezia n'agamba abantu balonde NUP ekintu ekyalaga kyekubiira kuba bannaddiini basaanye kuzzaamu bantu ssuubi na kulaga biki bye balina okukola okukkakkanya emitima gy'abantu," Kiwanda bwe yayongeddeko.
Kazimba era yalaze okunyolwa olw'omuwendo gw'abantu abangi abataasobodde kulonda kye yagambye nti kiva ku butasomesa bantu ku ddembe lyabwe ery'okulonda ekyaleetedde abamu obuteetaba mu nkola eno.
Yagambye nti n'abalala baafuna omutima oguteesiga birangirirwa kakiiko ka byakulonda nga mu kino baasalawo okukivaako nga bagamba nti ne bwe banaalonda tewali kigenda kukyuka nti obululu bwabwe bugenda kubbibwa.
Yeebazizza akakiiko k'ebyokulonda olw'emirembe gye baatadde mu kiseera ky'okulonda n'abasaba okugenda bwe bwatyo ne mu nnaku z'okulonda endala ezigenda okuddako.
Yayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okuwangula akalulu n'amusaba okusigala ng'aweereza Bannyuganda wakati mu mirembe eggwanga lisobole okukula.
Monday, January 18, 2021
Abaawanguddwa temwekwasa bannaddiini - Dr. Kazimba
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...