Monday, January 25, 2021

Abadde avuganya ku bwa Kanasala bamukubye ne bamwasa omutwe

Abadde avuganya ku bwa Kanasala bamukubye ne bamwasa omutwe

JOE Lumu  ayesimbyewo ku bwa kansala  ajja kulwawo ng'alojja akalulu olw'ekibinja ky'abavubuka  ekyamukakanyeko n'ekimukuba  ne bamunyagako
ssente n'essimu .
Lumu  y'omu ku baavuganyizza ku bwa kansala bw'omuluka gwa makerere 1 e Kawempe ogukolebwa zooni  5 okuli Battaka , Min Triangle, Mukwenda
,Banda   nga mu lwokaano yabaddemu Geoffrey Katwale Independent , Faisal Ssebwato Nup , Amidu Iga Nrm ,Alext Ntale DP , Michael Kintu ,
ANT , Moses  Muhamuze FDC  balumirizza nti beebamulukidde olukwe okumukuba nga bamulumirizza nti obwedda agabira abalonzi ssente
ekitali kituufu
Yagasseko nti  alondera mu mukwenda zooni e Makerere ng'okumukuba yabadde alina empapula zatwalira ba ajenti be  mu zooni Mini Triangle zooni  ng'abavubuka  baamukubidde ne bamusuula mu mwala  ne bamubbako
essimu ekika nifinx n'emitwalo 30.
"Benesimbyewo nabo be baampangidde okunkuba nga balaba mbasinza abalonzi ne batandiika okwekwasa nti mbadde ngabira abalonzi ssente ekitali kituufu naye enkuba gye bankubyemu mpulira obulamu sirina"
Lumu bwe yategeezezza
Ono yafunye ebisago mu maaso ku ngalo saalo n'okusebwa omubiri gwonna oluvannyuma baamukwatiredde ne bamutwala ku poliisi y'oku kaleerwe
nagulawo omusango  Fayiro nnamba SD REF:13/25/01/2021 .
Moses Kigozi ssentebe wa Min Triangle zooni  mwe baakubidde Lumu yategeezezza nti waliwo ekibinja ky'abavubuka ekiyitibwa EGAALI
obwedda ekigenda kitambula nga kikuba abantu n'ekibanyagulula nga Lumu byagamba nti bavuganya nabo be baamulukidde olukwe si kituufu .

7 Attachments
 
 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts