
BYA MOSES LEMISA
ENKUBA yataataaganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala. Kyokka eno abakadde balabiddwa nga bajjumbidde okulonda nga n'abamu baabaleese babasitudde.

Ku kifo ky'obwa Mmeeya, ky'abaddeko Dr. Emmanuel Sserunjogi wa NUP, Ashiraf Jjuuko Kiwanuka (Independent), Juma Wasswa NRM , Ramanthan Lukwago DP ne Muhamad Mutazindwa FDC.
Mu bifo ebirondebwamu ebimu baabadde tebakkirizaayo baamawulire ng'okukulabako ne kkamera owulira kibooko. Kino okusinga ky'abadde mu Mayinja zooni awaayiriddwa amagye nga kigambibwa waabaaddeyo abeesimbyewo abaabadde babba obululu.

Akalulu akasinze okubaamu ebbugumu ke ka Muhamad Nsubuga owa NUP ng'ono yakwatibwa ku misango gy'okusangibwa ne magaziini z'amasasi ng'era yeesimbyewo ku bwakansala bw'omuluka gwa Makerere III e Kawempe. Kyokka kino tekyalobedde bantu kumulonda.

Ye Moses Mutebi ne Zaituni Ndagire bazadde ba Nsubuga baategeezezza nti mutabani waabwe bwayitamu beetegefu okukola emirimu gy'omu kitundu gye yandibadde akola okutuusa ng'ayimbuddwa.