KAMPEYINI z'obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti ezimaze ennaku 64 zikomekkerezebwa leero wabula ku mulundi guno olunaku olukomekkereza kampeyini ssi lwa bbugumu nga kampeyini ezizze zibaawo.
Bulijjo ku lunaku olukomekkereza, kibeera kibbiitu mu Kampala olw'abeesimbyewo bonna enkung'aana ezisembayo okuzikuba mu Kampala kyokka obulwadde bwa Corona bwazirinnyemu eggere!
Abavuganya abasinga enkung'aana zaabwe ezisembayo baali balaze nti zaakubeera mu
Kampala ne Wakiso kyokka ku mulundi guno akakiiko ak'ebyokulonda mu Kampala n'ebimu ku bibuga zaayimirizibwa olw'okwewala okusaasaana kw'obulwadde bwa
Corona.
Yoweri Kaguta Museveni (NRM) yabadde waakubeera mu Kampala, kyokka olukung'aana lwasaziddwaamu nga kati asuubirwa okwogera leero ku ttivvi ne Leediyo ez'enjawulo okuwa abawagizi obubaka obusembayo.
Robert Kyagulanyi Ssentamu (NUP) abadde waakukuba nkung'aana e Kira, Nakawa East ne Kampala Central, kyokka naye ateekateeka okwogera eri abawagizi be ng'asinziira ku mikutu egya Social Media.
Fred Mwesigye abadde alina kuba Wakiso, Patrick Oboi Amuriat abadde asuubirwa Makindye, John Katumba bamusubiddwa e Lubaga, Kawempe ne Kyadondo.
Nobert Mao agenda kubeera n'enkung'ana bbiri ng'olusooka lwakubeera mu disitulikiti y'e Gulu ate olw'okubeera mu City y'e Gulu.
Joseph Kiiza Kabuleta naye alina enkung'aana bbiri ng'olusooka luli Hoima City ate olwokubiri mu disitulikiti y'e Hoima.
Mugisha Muntu alina kubeera mu disitulikiti z'obukiika kkono okuli; Abim, Kotido, Kaabong.
KYAGULANYI ALAZE BWE YEETEGEKEDDE AKALULU KU LWOKUNA
Nga beetegekera olunaku olw'okulonda enkya ku Lwokuna, abamu ku beesimbye balaze engeri gye beetegekeddemu okulonda kuno okutadde ensi ku bunkenke.
Kyagulanyi yagambye nti ab'ekibiina kya NUP baataddewo omukutu gwa App okugenda okuweerezebwa byonna ebiva mu kulonda nga bwe babigatta okuva mu bifo byonna 34,344 ebironderwamu.
Kyokka yalaze okutya olw'okuba ng'abantu baabwe bangi bakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda ne basibibwa obwemage. Kyokka kino tekijja kubamalamu maanyi kuba bagenda kukolera wamu bonna ng'abooludda oluvuganya.
MUSEVENI AYOGEDDE ERI ABAVUBUKA BA KAMPALA
Pulezidenti Museveni asabye Bannakampala okumulonda n'okumusindikira ababaka b'ekibiina kya NRM b'anaasobola okukolagana nabo obulungi.
Pulezidenti eyabadde mu maka g'obwapulezidenti e Ntebe gye yasinzidde ng'akozesa enkola ya zoom n'ayogera n'abavubuka, abakadde n'abakyala abaakung'anidde ku ssomero lya Kitante Primary School eggulo, yagambye nti "Mukimanye buli lwe mulonda abooludda oluvuganya Gavumenti babeera beenonyeza misaala misava mu kifo ky'okukola ebibagasa" bwe yagambye.
Yagambye nti basobola bulungi okuganyulwa mu nteekateeka za Gavumenti singa balonda bulungi. Yasuubizza okussa ssente mu bibiina by'obwegassi, okukola enguudo, okunyweza ebyokwerinda n'okwongeza emisaala gy'abakozi ba Gavumenti naddala abasawo.
TEWALI AGENDA KUWANGULA BUTEREEVU-TUMUKUNDE
Lt. Gen Henry Tumukunde yagambye nti yamaze okukola ekibalo nga ku bavuganya tewali agenda kuweza bululu bukola bitundu bisukka 50 okusobola okuwangula akalulu.
Ekigenda okubaawo omuwanguzi ajja kufunibwa ku mulundi gwakubiri ng'akalulu kazzeemu okulondebwa wakati w'ababiri abanaaba basinzizza obululu obungi.
Ku mulundi guno Tumukunde yagambye nti embeera ya njawulo nnyo ku bululu obuzze bubaawo kuba Bannayuganda abasinga tebakyali ba NRM. Tumukunde
ng'eyaliko minisita w'obutebenkevu yeegaanye ebimwogerwako nti aliko engeri gyazze ayambamu okubba obululu.
KABULEETA ABAKUUMA ABATADDE MU BULI GGOMBOLOLA
Kabuleeta yagambye nti wadde nga tabangako wa magye wadde sereebu kyokka alina eddembe okuvuganya ku ntebe y'eggwanga ng'aguza abantu ebirowoozo bye era kyakoze.
Ku lukwe yagambye nti ataddewo abantu abagenda okukuuma obululu bwe. Kyokka olw'okuba eggwanga ddene tabatadde mu buli kifo ekironderwamu, wabula ky'akakasa mu buli ggombolola alinamu omuntu.
ABA NRM BAGUMU KU MUSEVENI
Emmanuel Lumala Dombo, omwogezi wa NRM mu ggwanga eyayogedde ku lwa Yoweri Kaguta Museveni eyeesimbyewo ku lw'ekibiina yagambye nti omuntu we akyasukkulumye nnyo ku banne bwe bavuganya.
Yagambye nti bw'atunuulira enteekateeka gy'alina ey'okukulaakulanya eggwanga n'abalala kyeragirawo nti ye mwetegefu okufuga.
Kuno kwagatta n'okuba ng'alina byakoze ebirabika ng'ebifo by'amakolero e Namanve, Mbale ne Mbarara n'ebirala.
AMURIAT ALINA ESSUUBI
Patrick Oboi Amuriat akwatidde FDC bendera yagambye nti nga bakolaganira wamu ng'abooludda oluvuganya, alina obukakafu nti bateekeddwa okutuuka ku buwanguzi.
Okusinziira ku kunoonyereza kwe yakoze mu kiseera kino abooludda oluvuganya balina obuwagizi bwa bitundu 70 ku buli 100. Ate Pulezidenti Museveni ne NRM bawagirwa ebitundu 30 byokka.
Tuesday, January 12, 2021
Abavuganya balaze bwe beetegekedde akalulu
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...