Friday, January 1, 2021

Abawagizi ba Kyagulanyi 126 omwaka baguliiridde mu kaduukulu

Abawagizi ba Kyagulanyi 126 omwaka baguliiridde mu kaduukulu

Abawagizi ba Kyagulanyi  126 abaakwatiddwa abeebyokweriddwa e Kalangala nga poliisi egezaako okumukugira okwogera mu kitundu kino, fayiro zaabwe zaaweerezeddwa eri omuwaabi wa Gavumenti.

Poliisi egamba nti ku bano 90  baleeteddwa e Masaka ate 26 baasigaddeyo bakyali mu kaduukulu e Kalangala.

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga ategeezezza olwaleero nti wassiddwaawo akakiiko  akalimu ebitongole eby'enjawulo omuli; n'abakugu mu kusoma kkamera,  abalondoola abakozi b'ebikolobero,  abaabuuzizza abakwate bano ebibuuzo ebiwerako. Bano abasinga bakwatibwa ku kkamera ezaabadde mu bituntu bino ne ziraga obwedda bye bakola.  

Yagambye nti ekikwekweto kino  kyagendereddwaamu okukendeeza ebikolwa ebimenya amateeka eri abo bakiwagi .

Poliisi yagambye nti ebibinja bino ebirimu bakiwagi, bawagizi ba NUP era babadde bakola mu bumenyi bw'amateeka era nga byenyigira mu kutiisatiisa n'okukola ebikolwa ebimenya amateeka mu bitundu bingi eby'eggwanga.

"Bino ebikwekweto bigendereddwaamu okukuuma emirembe mu Bannayuganda n'okukendeeza bakiwagi n'abamenyi bamateeka bano ababeera mu kampeni zino. Era twakutte n'emmotoka mukaaga wamu ne pikipiki 20," Enanga bwe yagambye.

Ku Lwokusatu poliisi yagaanyi Kyagulanyi okwogerera mu lukungaana e Kalangala era n'ekwata bangi ku bayambi be bano. Oluvannyuma yatwaliddwa mu nnamukanga y'amagye n'atwalibwa e Kololo oluvannyuma n'atwalibwa mu maka ge e  Magere .

Mu baakwatiddwa mwe muli ne banywanyi  be ob'oku lusegere omuli; omuyimbi Nubian Li, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe, ne Dan Magic.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts