Thursday, January 21, 2021

Abawagizi ba pulezidenti Museveni bakwatiridde ekkubo okumukulisa akalulu

Abawagizi ba pulezidenti Museveni bakwatiridde ekkubo okumukulisa akalulu

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa okuwangula akalulu ke yaakawangula.

Ebibinja eby'enjawulo omuli ekisinde kya Yellow Power eky'abakunzi b'obuwagizi bwa pulezidenti Museveni mu Kampala n'emiriraano beeyiye Ku makubo okumulindirira.

E Busega abawagizi ab'enjawulo okubadde aba takisi nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Mustafa Mayambala n'abalala baamwaniriza mu kitiibwa n'ayimirira waggulu ku motoka n'abawuubirako nabeebaza obuwagizi.

       Ono Ng'alemedde Ku Mmotoka Ya Pulezidenti.




Yeeyongeddeyo mu Ndeeba gy'asanze abantu abakungaanidde ku kkubo, ayimiriddeko ku ofiisi z'ekisinde kya Yellow Power ekimukungira abawagizi mu ggwanga, wabula tavudde mu mmotoka abawuubiddeko ng'ali mu ndabirwamu.

Ssentebe w'ekisinde kya Yellow  Power, Gerald Kaboggoza akoze katemba bwe yisigamye ku mmotoka ya pulezidenti ne wataba amugambako ekicamudde ennyo abantu.

Bano Nga Baagala Okulaba Ku Pulezidenti.

Kaboggoza agambye nti okutuula ku mmotoka ya pulezident libadde ssanyu era talikyerabira mu bulamu bwe bwonna. Abantu basiimye pulezident okuleeta emirembe nga n'omuntu wa bulijjo asobola okwebakako ku mmoyoka ye. Aba Yellow power baabadde baagala pulezident ayogereko gye bali ekitasobose. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts