Friday, January 29, 2021

Abawala abayigirize baamugaso mu nkulaakulana y'eggwanga - Katikkiro Mayiga

Abawala abayigirize baamugaso mu nkulaakulana y'eggwanga - Katikkiro Mayiga




Okwogera bino yabadde ku matikkira ag'omulundi ogwe 15 ag'ettendekero ly'Obwakabaka era Buganda Royal Institute e Kakeeka- Mmengo ku Lwokutaano January 29, 2021 n'agamba nti omukyala omuyigirize era omutendeke wa musago nnyo eri enkulakulana y'eggwanga.

"Mu buli mbeera yonna omukazi bwatendekebwa eggwanga likulu,bannyaffe abatuyonsa bwebaba nga batendeke nga bamanyi kyebakola kibeera kyangu,abasajja babeera bakazana mu kino na kiri nga bamaama bali n'abaana era ebbeere lya bamaama lyetuyonka bagamba lyerituwa kyetufuuka.

Awo nno maama omutendeke obulungi,omuyigirize wamugaso eri eggwanga era Ssebo mwebale kutendeka baana bawalaabngi bwebati," Mayiga bweyayogedde.

Ku misomo gy'emikono, Katikkiro Mayiga yategezezza nga bwegiri egy'omugaso mu kuzimba eggwanga naddala Uganda ng'erikyakula.

"Emisomo nga gino egiweebwa wano,oluusi tugiyita egy'emikono gy'egijja okubulula ensi zino ezikyali ento kubanga nze ndowooza twetaaga makanika okusinga yinginiya,twetaaga omulimisa eri mu byalo okusinga eyasoma eby'obulimi nabifinamu zi diguli. Mu nsi ezikyakula ebibutawanya bibeera ebyo ebitonotono naye tetumanyi kubikwata bulungi. Bwemutendekebwa mu masomo gano agawano,mujja kuba bamugaso mu kuzimba ensi yaffe," Katikkiro Mayiga bweyagaseeko.

Mayiga yasabye ettendekero lino okuteeka essira ku tekinologiya kubanga ekiseera kino aina obukugu mu ye,yagenda okulya ensi era n'akubirizza n'abayizi okuzesa amagezi gebafunye okukyusa obulamu bwaabwe n'ensi okutwalira awamu ate bewale endwadde okuli kkolona ne mukenenya.

Minisita w'ebyenjigiriza mu Buganda,Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yebazizza ettendekero lino olw'okutwala emisomo mu maaso mu kiseera eggwanga weriberedde nga litawanyizibwa ekirwadde kya COVID-19(Ssenyiga kkolona).

Akulira lino Anthony Wamala yategezezza nga bwebatadde amaanyi mu kusomesa nga bakozesa omutimbagano era neyebaza abazadde n'ebitongole okusigala nga babasindikira abaana okubabangula n'abasaba okugenda mu maaso kubanga buli ekyetaagisa mu kusomesa bakirina.

Abayizi 711 bebatikiddwa ku mukolo ogwagoberedde ebiragiro by'okulwanyisa kkolona nga ku bao 444 baabadde baana bawala ate 267 balenzi.

Abayizi 541 bafunye dipuloma mu misomo egy'enjawulo ate 170 nebaweebwa satifikeeti. Omuyizi Nicholas Ssebulime yeyanywedde mu banne akeendo nga yasiimiddwa n'ekirabo wamu n'ensimbi 500,000/- ng'entandikwa.

Omukolo gwetabiddwako Abamyuka Ba Katikkiro okuli Polof. Twaha Kigongo Kaawaase,Robert Waggwa Nsibirwa ng'no era ye Muwanika wa Buganda,Miniista w'abavubuka Henry Ssekabembe n'abakungu abalala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts