Friday, January 8, 2021

Abayimbi mumpe omukisa mperereze abaminisitule batuwe ssente - Ragga Dee

Abayimbi mumpe omukisa mperereze abaminisitule  batuwe ssente - Ragga Dee

Ng'omu ku bakulembeddemu enteekateeka y'okulaba ng'abayimbi bafuna ssente zino ezaabasuubizibwa gavumenti obuwumbi 47, Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Ragga Dee yasoose kwegaana kubeera mu nteekateeka z'abo abategeka okwekalakaasa ng'agamba nti bamuwe omukisa ye ng'omuntu ayongere okwogera n'aba minisitule okulaba nga bafuna ssente mu mirembe.

"Minisitule si bbanka nti atambula ng'ogenda ng'oggyayo ssente z'oyagala. Tugumiikirize ssente zijja" bwe yagasseeko bwe yabuuziddwa ku ngabana ya ssente zino, Ragga Dee yagambye nti obuwumbi 10 ze z'abayimbi okweddaabulula ate obuwumbi 37 za kugula na kuteekawo ekifo eky'omulembe ekigenda okukola ng'amaka g'abayimbi ne bannabitone abalala e Bwebajja.

"Okufaananako ne Holly Wood mu Amerika oba Nolly wood mu Nigeria ne mu Uganda tugenda kufuna ekifo eky'omulembe w'osanga buli kimu kye weetaaga ng'omuyimbi, munnakatemba, omuzannyi wa ffirimu n'abalala era nga kirimu buli kimu kye weetaaga okukola ekyo ky'oyagala okuba ku mutindo.

MUBEERE BAGUMIIKIRIZZA - MINISITULE
Frank Mugabi omwogezi wa minisitule y'Ekikula ky'abantu bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yasoose kwennyamira olw'engeri abayimbi gye bakuttemu ensonga zino.

Twawulidde nti baagala kwekalakaasa naye nze ndowooza nti si kye kituufu kye balina okukola. Twogedde n'abakulembeze baabwe era tufubye okubannyonnyola naye kirabika bagaanyi okutegeera engeri ‘sisitiimu' za gavumenti bwe zikola.

Ekirungi gavumenti yakkirizza okubawa ssente era naffe nga minisitule ebatwala twawandiikira aba minisitule y'ebyensimbi ku nsonga y'emu okulaba nga banoonya ssente zino kuba tezaali mu bajeti.

Nnyongera okubasaba babeere bagumiikiriza nga bwe tunoonya ssente nga bwe twasobodde okufunayo akawumbi 1.2 netuzibawa nsuubira amangu ddala nga tufunyeewo ssente endala nazo tujja zibawa.

Tekibayamba kwekalakaasa ng'ate bakiraba tulina we tutuuse ku nsonga zino. Nze ndowooza n'abakulu be kikwatako ku nsonga eno bwe bakiraba kijja kubayisa bulala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts