ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssomero lya Kasubi Family okufuna obukonge bwabwe obunaabasobozesa okwetaba mu kulonda kwa bonna okubindaabinda awatali kutaataganyizibwa.
Obukonge bw'ebyalo bino babufunira ku ssomero lya Nakyekoledde oba Kasubi Family kyokka abamu baagenzeeyo ne batabufuna ne bakiikira akakiiko k'ebyokulonda ensingo oluvannyuma lw'okusanga ng'amannya gaabwe tegali ku lukalala.
Abalala beemulugunyizza ku mujjuzo oguli mu kifo kino ne balaga okutya nti ate akakiiko k'ebyokulonda kandibateeka mu katyabaga k'okukwatibwa Covid 19 nga bagamba nti obukonge buno bwandibadde butwalibwa ewa bassentebe b'ebyalo.Era bagamba nti n'abantu be baataddewo okubakolako batono okusinziira ku nnamba y'abantu.
N'abamu ku beesimbyewo baalabye abantu bangi ate ne badda mu kubakuyega n'okubajjukiza okubalabiranga ddala nga January 14. Ronald Kato ayakuliddemu enteekateeka z'okugaba obukonge buno mu kifo kino ategeezezza nti omujjuzo guvudde ku ngeri abantu gye bajjumbiddemu okufuna obukonge buno n'okwagala okwenyigira mu kulonda.
Kato ategeezezza nti abantu bonna abeewandiisa mwebali era obukonge bwabwe weebuli ng'abatannaba kweraba balina okuwaayo obudde. Akikkaatirizza nti tewali akkirizibwa kufunira munne kakonge.