Thursday, January 7, 2021

Ab'e Kawanda basse agambibwa okuba omubbi

Ab'e Kawanda basse agambibwa okuba omubbi

ABATUUZE ku kyalo Kikajjo e Nakyesanja Kawanda baguddemu ekyekango bwe basanze omulambo gw'omuvubuuka mu mwala ng'attiddwa.

Abatuuze n'abaserikale nga bateeka omulambo gw'omuvubuka ku kabangali.

Kiteeberezebwa nti yabadde mubbi era okumutta yabadde aliko ekikomera kye yabadde ayingiddemu okubba mu kiro ekikeesezza ku Lwokuna.

Omuvubuka ono tamanyikiddwa mu kitundu era abatuuze abaabadde bayita okumpi n'omwala ogwawula Nakyesanja ne Watindo e Kawanda be baamulabye mu mazzi ne bayita poliisi okuva e Kawanda eyakulembeddwamu Micheal Odongo ne baggyayo omulambo ogwabadde gutemeddwatemeddwa ebiso ne bagutwala.

Abatuuze obubbi babutadde ku bantu abazimba ennyumba ne bazireka nga tebaziggadde ng'ababbi mwe basinziira okutigomya abatuuze. Eyeesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'obwa kansala w'e Nakyesajja ku Nabweru Division, Nathan Kinene asabye abavubuuka okunyiikira okukola n'avumirira eky'abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza ng'omuvubuka ono bwe yattiddwa oluvannyuma lw'okuyingirira amaka agamu abatuuze gye baamusanze ne bamutta. Yagambye nti bakyanoonyereza amaka mwe yabadde agenze okubba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts