Saturday, January 23, 2021

Ani yasse mu bukambwe owa NUP e Mukono

Ani yasse mu bukambwe owa NUP e Mukono

OMULAALO eyabadde anoonya ente ezaabadde zimubuzeeko ye yagudde ku mulambo gwa Rogers Ssemakula mu kibira eyabula ng'abaserikale bamugoba wiiki ewedde.

Umar Kaweesa, mukwano gwa Ssemakula olwamugambye nti bazudde omulambo gwa Ssemakula n'atema omulanga.

Yagambye nti, "Ssemakula yajja ewange ng'adduka n'agamba abaserikale bamugoba n'ansaba eddagala anaabe n'agamba k'agende yeekweke mu mimwanyi, woooowe Ssemakula bakusse bubi mukwano."

                    Ssemakula Gwe Basse

Ssemakula, kigambibwa nti abadde akuba bbulooka ku kyalo Kiyunga mu muluka gw'e Kabembe mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono.

Y'abadde akulembera abavubuka ku kyalo nga ky'abalagidde okukola tebamuddamu ne
ky'abagaanye nga bawuliriza.

Kaweesa yagambye nti, bwe yagenda ewuwe, yamusaba obutabaako muntu yenna gw'abuulira gye yali yeekwese kubanga abaserikale be baali bamugoba ng'atidde nti, bayinza okumukolako obulabe.

Abdul Swamadu Lumu omutuuze w'e Kiyunga yagambye nti, Ssemakula baamusse lwa byabufuzi. "Tabadde munnabyabufuzi naye abadde muwagizi wa NUP ate ng'abavubuka bamuwuliriramu nnyo." Lumu bwe yagambye.

Nnamwandu Sharifa Nampijja yagambye nti, Ssemakula abadde amaze ennaku nnya nga tadda waka nga yeebuuza bba gye yalaga nga takitegeera.

Yagambye nti, okuva lwe baatandika okuwamba abantu, bba abadde takyatambula kusukka Kiyunga wabula tamanyi ngeri gye yawambibwa kutuuka kuttibwa.

Ssemakula ne Nampijja babadde balina abaana babiri era yagambye nti, tamanyi ky'agenda kuzzaako kubanga y'abadde abalabirira.

Kigambibwa nti abatemu bwe baakwata Ssemakula, baamuwalaawala ne bamuggya mu bantu ne bamutambuza mayiro nga nnamba ne bamuyingiza mu kibira kya gavumenti ku kyalo Mulaje mu muluka gw'e Kabembe gye baamuttira.

Omulambo gwe, gwasangiddwaako ebituli ku magulu era abaserikale okuva ku poliisi y'e Naggalama abaaguggyeeyo, bateebereza nti, yasooka kutulugunyizibwa.

Baamwambula engoye ze yalimu okwali essaati ey'obukuubo obumyufu ne wovulo eya kacungwa ne babiteeka ku bbali ne balyoka bamutta.

Ensingo yasangiddwa nga baaginyigira wakati w'amatabi g'omuti era baasanze ng'omulambo gutandise okuvunda.

Baamuttira mu kifo ekiziyivu wakati mu kibira era poliisi yasoose kusaawa kibira okuggyayo omulambo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, baafunye amawulire ku muntu eyattibwa n'asuulibwa mu kibira abakugu mu kwekenneenya ebifo awazziddwa emisango ne basindikibwayo ne bazuula omulambo nga gutandise okuvunda.

Yagambye nti, omulambo ogwazuuliddwa guteeberezebwa okuba ogwa Rogers Ssemakula 30, era gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa.

Yagasseeko nti, baakutte abantu babiri okuli Kenneth Wakasaana ne Anthony Kiwanuka babayambeko okunoonyereza era bagguddewo ffayiro 003/2021 ku poliisi y'e Naggalama okubuuliriza ku nfa ya Ssemakula.

Omugenzi yaziikiddwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno e Kiyunga- Mukono.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts