Bya BENJAMIN SSEMWANGA
ABAKULEMBEZE e Gaba mu munisipaali y'e Makindye basabye akakiiko k'ebyokulonda okwekennenya ensobi ezikolebwa mu kiseera kino eky'ebyokulonda okwewala okweraliikiriza abantu.
Bano bagamba nti abamu ku bakulembeze baabwe ku mutendera gwa bakansala LCIII e Gaba abakyala abeesimbyewo bali mu kutya oluvannyuma lw'obululu bwabwe okusazibwamu nga Jan 25, ku lwa munnaabwe okutuuka ku ssaawa 7:00 okulonda nga teyeeraba ku lukalala lw'abesimbyewo.
Sarah Nakigudde eyeesimbyewo ku bwakansala LCIII yataalabikidde ku lukalala okuli abalondebwa ekintu ekyamwewuunyisizza enyo kyokka ate nga buli kimu yali yakitambuza bulungi.
Patricia Nanteza naye eyeesimbyewo yategeezezza nti omutima gukyamwewanise olw'okumala okulonda ate obululu bwabwe ne busazibwamu nga n'okutuusa kati tebannaba kubabuulira lwe baddamu okulonda.
Jimmy Kamya omumyuka wa ssentebe wa LCI Gaba yategeezezza nti yabuuliddeko abebyokwerinda n'aba Electoral commission ku nsonga eno kyokka era bali mu kutya n'asaba be kikwatako okugonjoola ensobi zino ng'okulonda okuddako tekunnaba kubaawo.