EBIBIINA by'obwannakyewa ebirondoola eby'okulonda omuli ekya Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDU) ne National Initiative for Civic & Voter Education in Uganda (NICE, Uganda) byennyamidde olw'akakiiko k'ebyokulonda okulwawo okugaba obupapula obulaga abalonzi we balondera mu bitundu ebimu.
Akulira CCEDU, Charity Ahimbisibwe ne munne Chrispin Kaheru owa NICE bagamba nti akakiiko k'ebyokulonda kaategeezezza nti obupapula bwatuuse ku miruka era ne butandika
okugabibwa ku Ssande, nti kyokka mu bitundu ebimu nga e Mukono bwabadde tebunnatuuka.
Bino baabituuseeko nga basisinkanye abavubuka e Mukono abasoba 80 nga babakunga okwenyigira mu byokulonda nga beeyambisa omutimbagano mu kampeyini gye bayise ‘Omulembe gwa digito, Beera mu class.'
Eyaliko minisita akwasisa empisa n'obuntubulamu Maria Matembe yasinzidde wano
n'akuutira abavubuka okulonda abakulembeze abalina omuzinzi era n'ababuulirira nti bangi baakubagulirira n'ensimbi nti zo bazirye kyokka balonde abanaabagasa.
Wednesday, January 6, 2021
Ebibiina ebirondoola eby'okulonda byennyamidde olw'akakiiko
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
South Africa's Health minister says the nation will still hit its COVID-19 vaccination targets, even as it pauses the use of the Johnson...