BAWANNYONDO balaajanidde kkooti ku bizibu bye basanga mu kukola emirimu gyabwe. Ku Lwokutaano akawungeezi, amyuka omuwandiisi wa kkooti, Ayabare Tumwebaze yalayizza akakiiko ka bantu bataano okukulembera bawannyondo abasoba mu 600 mu ggwanga lyonna.
Abaalayidde kuliko; Brian Kanyesigye pulezidenti wa bawannyondo, Sarah Kyomuhangi amumyuka, Evas Nankunda ow'ebyamawulire, Nelson Murinzi omuwanika ne Mutakya Cranmer. Tumwebaze bwe yabadde alayiza akakiiko kano ku kkooti enkulu mu Kampala ku Lwokutaano, yagambye nti okusoomoozebwa kungi bawannyondo kwe basanga ng'okumu kuva mu kkooti ate okulala kuva mu bantu ba bulijjo.
Yagambye nti, ng'essiga eddamuzi, bagenda kukolera wamu n'akakiiko akaalondeddwa okumalawo okusoomoozebwa kuno. Yabakuutidde okusoma ennyo ebiwandiiko basobole okwogiwaza obwongo bwabwe mu by'amateeka bwe baba balemeddwa, beebuuze ku basobola okubayamba.
Yabalabudde ne ku bantu be bakozesa okuteeka ebiragiro bya kkooti mu nkola n'agamba nti, bwe baba beetaaga okukozesa bakanyama, balina kukola nga wannyondo ali mu mateeka waali bwe kitaba ekyo, baba bakola mu bumenyi bw'amateeka.
Akulira abawandiisi ba kkooti, Sarah Langa yabasabye okukola emirimu gyabwe mu ngeri etanyigiriza ludda lulala ate n'okukozesa obukugu. Yeekokkodde engeri gye bayisibwamu abantu ababavuma n'okubakuba.