Bya Deogratius Kiwanuka
Waliwo abavubuka bangi nga guno gwe gugenda okuba omulundi gwabwe ogusooka okwetaba mu kalulu kyokka waliwo endowooza nti abalonzi bano abapya n'abalonzi bonna okutwalira awamu tebeteekeddwateekeddwa kimala.
Bukedde akyaddeko ku kitebe ky'ebyokulonda okuzuula ebintu ebikulu abalonzi bye balina okumanya nga bagenda okukuba akalulu. Omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda bino by'atulambululidde:
OMUWENDO GW'ABALONZI GWEYOGEDDE.
Paul Bukenya omwogezi w'akakiiko k'ebyokulodda yategezezza nti omuwendo gw'abalonzi gweyogedde okusinga ku muwendo ogwaliwo mu kulonda okwaggwa, emyaka etaano egiyise.
Mu kulonda okwaggwa abalonzi baali 15,277,198 wabula nga kati beeyongeddeko abalonzi 2,381,329 nga kati bali 17,658,527.
Abasajja abasuubirwa okulonda bali 8,439,564 [47.79%]ate abakyala 9,218,963 [52.21%]
Omuwendo gw'ebifo ebirondebwamu , disitulikiti 146, amasaza 312, ggombolola 2,184, emiruka 10,595, ebyalo 70,626. Wabula ebifo awalonderwa biri 34,344 mu ggwanga lyonna.
BY'OTOLINA KUBUUSA MAASO NG'OGENDA MU KIFO AWALONDERWA
Bukenya yategeezezza nti buli muntu alina okumanya w'agenda okulondera. Buli Munnayuganda alina okugenda ku miruka okuweebwa akakonge akalaga w'agenda okulondera.
Akakonge kano kalaga nti oli mweteefuteefu okulonda olw'ensonga nti bw'okafuna kabonero akalaga nti mu nkalala z'abalonda mw'oli.
Omulonzi wenna olina okubeera ku lukalala lw'okulonda. Bukenya alaze woyinza okukebera oba mu lukalala mw'oli ng'okozesa omutimbagano (yintaneeti) genda ku kibanja kino: https://www.ec.or.ug/register oyingizeemu nnamba yo eya NIN
AMASIMU SI GAAKUKKIRIZIBWA
mu buli kifo awalondebwa tewagenda kukkirizibwa kumala gakozesa masimu mu ngeri ey'ekyeyonoonero okugeza okumala gakubaakuba bifaananyi olw'ensonga oyo yenna abeera akikola abeera ali mu kampeyini.
OLINA OKUBA N'ENDAGAMUNTU
Okutambula n'endagamuntu/ ennangamuntu, ekigendererwa kukakasa ddala ye ggwe ali ku lukalala era n'okugeraageranya akafaananyi k'endagamuntu yo n'ako akali mu lukalala lw'abalonzi.
Ekyuma ekikakasa abalonzi, Kino kyakuyamba abalonzi obutalonda mulundi gusukka mu gumu. Ebinkumu byakwetegerezebwa nnyo mu kiseera ky'okulonda nga tweyambisa ekyuma kino.
EBIFO BY'OLONDA
Omuntu yenna agenda okusuula akalulu nga 14 January, olina okumanya nti abantu basatu b'olina okulonda. Kuno kuliko Pulezidenti, omubaka wa palimenti ow'ekitundu kw'ossa n'omubaka omukyala owa palamenti.
AKALULU AKATUUFU BWE KALINA OKUFAANANA
Bukenya alabudde abalonzi okwegendereza engeri gye balina okukwatamu obukonge kwe balondera.
Omulonzi alina okussa (tiiki) mu kabookisi akaleegedde mu muntu gw'oyagala okulonda kyokka tiiki eyo terina kukoona ku nsalosalo za kabookisi ako wabula erina kuba munda, ate abo abakozesa ekinkumu nakyo tekirina kusukka nsalosalo za kabookisi wadde okuzikoonako.
Akalulu konna akanajjuzibwa nga tiiki esukka akabookisi kajja kuba kafu era tekajja kubalibwa.
ENFUNYA Y'AKAKONGE
omulonzi bw'oba omalirizZa okujjuza akakonge kano olina okukafunyamu mu buwanvu omulundi gumu. Akalulu akafunyiziddwaamu obukiika kabeera kafu era tekagenda kubalibwa.
LANGI Z'EBIBIINA EZITAGENDA KUKKIRIZIBWA WALONDERWA.
Agamba nti waliwo ebibiina eby'enkizo ebitunuuliddwa nga langi zaabyo tezijja kukkirizibwa mu bifo byonna awagenda okulonderwa.
Ebibiina bino kuliko, National Resistance Movement(NRM) nga kino kirina langi ya kyenvu, National Unity Platform(NUP) balina langi emmyuufu, enjeru ne bbululu. Wabula nga langi emmyuufu y'esinze okutunuulirwa. Ebirala kuliko Democratic Party(DP) balina kiragala ne Forum for Democratic Change(FDC) langi ya bbulu nga langi zino nazo si zaakukkirizibwa.
Langi endala ezitatunuuliddwa abalonzi balina okwewala okuzigenderamu okulonda naddala nga kuliko obubonero bw'ebibiina bye bawagira.
AMATEEKA G'EBYOBULAMU MU KULONDA
Bukenya asabye abalonzi okugoberera amateeka g'ebyobulamu naddala nga bali mu bifo we balondera, Agamu ku mateeka buli mulonzi g'alina okugoberera ge gano wamanga;
Akakookolo(Masiki), Tewali muntu yenna agenda kukkirizibwa kulonda nga tayambadde kakookolo (masiki).
Okwewa amabanga mu lunyiriri, Abalonzi bonna bakubirizibwa okutuuka mu bifo awalonderwa mu budde okwewala omujjuzo era balina okwewa amabanga agalagirwa nga bali mu nnyiririr mwe balondera.
Okunaaba engalo, Nga waakatuuka mu kifo w'ogenda okulondera sooka onaabe mu ngalo okwewala okusaasaanya akawuka ka Ssennyiga omukambwe.
Okwekwata mu ngalo n'okugwang'ana mu bifuba, Buli mulonzi akubirizibwa okwewala okukwata mu ngalo z'omulonzi omulala wadde okumugwa mu kifuba era nga kino si kyakukkirizibwa mu bifo ebironderwamu.
Okukung'aana, Tekigenda kukkirizibwa abalonzi okukung'aanira mu bifo awalonderwa naddala ng'okulonda kuwedde.
Gye buvuddeko akulira akakiiko kebyokulodda omulamuzi Simon Byabakama yavaayo n'ategeza nga bwe kitagenda kukkirizibwa abalonzi okumaliriza okulonda ate ne balinda akalulu okubalibwa.
OKWAMBALA LANGI Z'EBIBIINA
Fred Enanga, omwogezi wa poliisi mu ggwanga yategeezezza nti bonna abasuubira okwetaba mu kulonda basaanyee okwewala okwambala langi z'engoye z'ebibiina bye bawagira ng'agamba nti babeera bacankalanya n'okutaataaganya obwongo bw'abalala.
Ku ky'obubiina obukuuma akalulu obuteereddwaawo, Enanga yategeezezza nti ensonga eno ekyetegerezebwa nti kubanga oluusi bumanyi okutabangula emirembe nga bugezaako okutisatiisa abalonzi n'abavunaanyizibwa ku by'okulonda.
Ebifo awasuubirwa okubeera embiranye tubimanyi era tumaze okweteekateeka obulungi okulaba ng'effujjo lyewalibwa.