EBYAVUDDE mu kalulu ka bammeeya ba munisipaali n'aba Divizoni ez'omu City ez'enjawulo mu ggwanga byalangiriddwa mu butongole ku Lwokusatu, abawanguzi n'abawagizi baabwe ne bajaganya kyokka abaawanguddwa n'abawagizi baabwe baasigadde mu kiyongobero n'amaziga.
Mu munisipaali y'e Ntebe byaggweeredde mu kuyiwa musaayi, amagye bwe gaakubye abantu mukaaga amasasi omwabadde ne ssentebe w'abavubuka ba NRM e Katabi, Eric Kyeyune era ono yafiiriddewo.
Amagye gaabadde gagumbulula abawagizi ba Michael Mutebi owa NRM abaabadde beekalakaasa nga bawakanya obuwanguzi bwa Fabrice Rulinda.
Aba NRM beekalakaasizza nga bagamba nti tebayinza kukkiriza Fabrice kubakulembera kubanga yabadde waakuna kyokka bugenze okukya ng'alangiriddwa.
Aba NRM baabadde beekalakaasa e Ntebe, nga n'abawagizi ba Vincent Kayanja De-Paul owa DP abaabadde ku kitebe ky'akakiiko k'ebyokulonda e Wakiso bakaaba.
Innocent Ssewankambo, kkansala akiikirira omuluka gwa Katabi ku lukiiko lwa munisipaali e Ntebe nga muwagizi wa De- Paul yatudde ku ttaka n'atema omulanga oluvannyuma lw'okutegeezebwa nti, Rulinda ye yabadde awangudde ekifo kya Mmeeya wa Ntebe.
Obudde bwagenze okuwungeera ku Mmande okubala akalulu we kwatandikidde, Mutebi owa NRM yabadde attunka ne Kayanja owa DP olwo Rulinda n'abeera mu kyokusatu. Wabula akulira ebyokulonda, Tolbert Musinguzi yagenze okulangirira ebyavudde mu kulonda nga Rulinda ye Mmeeya wa Ntebe.
ENGERI GYE BASSE SSENTEBE
Abawagizi ba Mutebi olwategedde nti Rulinda y'awangudde ne batandika okwekalakaasa.
Baasuddeko ennyimba za Bobi Wine ne bakungaanya ebipande bya NRM okwabadde n'ebya Mutebi ne batandika okwekalakaasa mu maaso g'akatale ka Central Market mu kibuga ky'e Ntebe.
Kigambibwa nti, abajaasi b'eggye lya SFC abaabadde basindikiddwa okukuuma emirembe nga bakolera wamu ne poliisi baagenze okugumbulula abaabadde beekalakaasa era mu kukuba ttiyaggaasi n'amasasi, baakubye abantu 6, omwabadde ne Eric Kyeyune ssentebe w'abavubuka ba NRM e Katabi n'afa nga baakamutuusa mu ddwaaliro lya Emmanuel Medical Clinic e Katabi.
Jesca Kankunda okuva mu State House yazze okukkakkanya abawagizi ba NRM n'agamba nti bagenda kulangirira omuntu omutuufu era nti omukulembeze
w'eggwanga ayingidde mu nsonga eno.
Omwogezi w'eggye lya SFC, Capt. Jimmy Omala yakakasizza nti kituufu omuserikale wa SFC ye yakubye Eric Kyeyune essasi mu ngeri gye yayise ey'obutanwa, kyokka naye n'asuubiza nti eyakikoze waakuvunaanibwa.
Yasaasidde ab'enju ya Kyeyune era n'asuubiza nti SFC ejja kukola ku nsonga zonna
ez'okuziika.
ABAAMAGYE BAKUBYE ABALONZI E KAWEMPE
Ku kifo awalonderwa ku UCTU Ground e Kawempe mu Kalule zooni, abaamagye baasombeddwa ku loole okulonda era essaawa z'okulonda nga ziweddeko, bennyini baatandise okukuba abantu kibooko omuli n'abaabadde tebannaba kulonda nga babagamba nti, essaawa zaabadde ziweddeko badde ewaabwe.
ABA NUP BEETISSE MASAKA
Akulira eby'okulonda e Masaka, Sam Agaba Rutemba yalangiridde Michael Mulindwa Nakumusana owa NUP ku bwammeeya wa Nyendo -Mukungwe. Yafunye obululu 8,357 n'addirirwa Gerald Kawuma (IND) eyafunye 6,699. Ku kya Mmeeya wa Kimaanya-Kabonera, Agaba yalangiridde Steven Lukyamuzi (NUP) eyafunye obululu 9,163.
FDC YATUTTE LUGAZI ATE NRM N'ETWALA NJERU
John Bosco Asea Ozuma owa FDC yawangudde ekya Mmeeya wa Lugazi, n'obululu 7,916. Poliisi yalwanaganye n'abawagizi ba Asea abaabadde baagala okuyita wakati mu kibuga nga bajaganya n'ebakubamu ttiyaggaasi.
Bano nabo baagyanukuzza mayinja okukkakkana ng'owapoliisi limukubye ku mutwe atonnya musaayi.
Ate Yasin Kyazze owa NRM, yawangudde ekya Mmeeya wa Njeru. Yafunye obululu 12,743 n'addirirwa Aziz Jjunju atalina kibiina yafunye 9,771 ate Siraje Mudango owa NUP n'afuna 1,483.
OWA NUP AWANGUDDE IGANGA
Derrick Bamugemye (NUP) amanyiddwa nga Bamu Lulenzi yafunye obululu 4,595 n'addirirwa Mmeeya abaddeko, David Balaba atalina kibiina yafunye 2,945 ate Asuman Dhabasadha owa NRM, yafunye 2,313.
NRM YEEFUZE ANKOLE
Mu Mbarara City North Division, Gumisiriza Kyabwisho Kotozi owa NRM yawangudde n'obululu 9,185. South Division, Mugabi Jomo Jamidin owa NRM yafunye 16,321 ate Quraish Ssegawa owa NUP n'afuna 2,793.
E Ishaka, Richard Byaruhanga owa NRM yawangudde n'obululu 6,954. E Ntungamo, Jacob Kafureka NRM yafunye obululu 3,331. E Ibanda, Apollo Kibeherere owa NRM yafunye 12,346. Mu Munisipaali y'e Sheema Abel Kahara owa NRM yafunye 17,263.
E KABALE NE RUKUNGIRI NRM YAWANGUDDWA
E Kabaale, Kentaro Byamugisha atalina kibiina yafunye obululu 8,019 n'addirirwa Richard Muhanguzi FDC eyafunye 3,328.
Ate e Rukungiri, Charles Makuru owa FDC yawangudde ekya Mmeeya, yafunye 4,801 n'addirirwa Geoffrey Tindarwesire owa NRM eyafunye obululu 4, 279.
Abatuuze e Lugazi nga basitudde omukazi eyazirise oluvannyuma lwa poliisi okukuba ttiyaggaasi mu bawagizi ba Asea abaabadde bayisa ebivvulu.
Wednesday, January 27, 2021
Ebyabadde mu kalulu k'obwammeeya. Ssentebe wa NRM e Ntebe bamuttidde mu kwekalakaasa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...