Wednesday, January 13, 2021

Minisita asimattuse amasasi

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki, asimattuse amasasi olwaleero ku makya bw'abadde adda mu maka ge.

Amawulire ge tufunye galaga nga minisita ono ate omubaka wa Bugangaizi West mu palamenti yabadde adda eka ku ssaawa nga 6:00 ogw'ekiro kwe kugwa ku basajja bano abaabadde babagalidde emmundu ku kyalo Kakora mu kibuga kya Nyalweyo mu disitulikiti y'e Kakumiro.

" Nnabadde nnaakamaliririza kampeyini zange ku leediyo emu nga nzira eka kwe kugwa mu basajja bano abaasasisidde emmotoka yange amasasi naye ddereeva wange teyayimiridde era ekirungi tewali yalumiriziddwa," Kasirivu bwe yagambye.

Ddereeva wa Kasirivu yagambye nti abasajja bano baabataayiza okuva ku njuyi zombi ez'oluguudo ne balyoka basasira mmotoka yaffe amasasi.

 Akuduumira poliisi y'e  Kakumiro, Twaha Buyinza akakasizza amawulire gano. " Kituufu emmotoka ya minisita yakubiddwa amasasi era bwe twategeezeddwa twayungudde abasajja  baffe okugenda okubanganga. Era tukyanoonyeza ku baabadde baagala okukukola obutemu buno," Buyinza bwe yagambye.

Minisita Atwoki Kasirivu

Buyinza yagambye nti emmotoka yakubiddwa amasasi emirundi munaana.

"Simanyi bantu bano wadde ekigendererwa kyabwe naye nsuubira beebo ababadde bampeereza obubaka obundabula," Kasirivu bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa oba ng'alina gwe yalabye, minisita yagambye "nti bw'abadde kiro ate nga waliwo ekisiko nga tolina muntu gw'oyinza kulaba" bwe yagambye.

Kasirivu yawangulwa Fred Byamukama mu kamyufu ka  NRM era abadde yeesimbyewo ku lulwe.

Naye waliwo engambo mu kitundu nti minisita ono abadde yeenyigira nnyo mu mivuyo gy'ettaka era kirabika ng'abantu b'agugulana nabo bandiba abamu ku abo ababadde baagala okumutuusaako obulabe. 

Wabula waliwo n'abagamba nti minisita ayinza okuba nga yakipanze asobole okufuna obululu ng'abantu bamusaasira.

Obutemu obw'ekika kino bubadde bukolebwa ku bantu bangi.

Mu 2017, eyali amyuka omuduumizi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi yakubwa amasasi n'abakuumi be n'attibwa ku ssaawa 3;00 ez'oku makya . Ate omubaka wa Arua mu palamenti Ibrahim Abiriga yakubwa amasasi mu 2018 bwe addayo awaka.


Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts