Bya SEMEI WESSAALI
GAVUMENTI ya Uganda eggaddewo omukutu gwa ‘Facebook' mu Uganda lwa Pulezidenti Museveni kye yayise okweyingiza mu nsonga za Uganda ez'omunda. Emikutu emirala egyataataganyiziddwa kuliko ‘WhatsApp' ne ‘twitter'.
Okusinziira ku mukutu gwa Statcounter -Global stats, Uganda erimu abantu 2,379,000 abakozesa Facebook abenkanakana ebitundu 4.9 ku muwendo gw'abantu abali mu Uganda abasukka obukadde 40. Kino baakibala mu January wa 2019.
Bwe yabadde ayogera eri eggwanga mu kiro ekikeesezza leero ng'eggwanga lyetegekera okulonda, Museveni yagambye nti, wadde yasaaliddwa olw'abantu ababadde bakozesa ‘Facebook' mu ggwanga, yabadde talina kyakukola kubanga kkampuni ya Facebook baagiragidde ekyuseemu by'ekola n'egaana.
Obuzibu bwavudde ku kkampuni eyo ey'Abamerika okuwera abantu 12 aboogerera ku mukutu guno nga abamu ku bo bawagazi ba NRM. Abaawereddwa ku mukutu guno kuliko, Jennifer Nakanguubi amanyiddwa nga Full Figure, Andrew Mukasa ayitibwa Bajjo, Ashberg Kato n'abalala.
Bano bonna babadde bakubira ekibiina kya NRM kampeyini. ‘Facebook' bwe yabadde eyanukula omukutu gw'amawulire ogwa AP ku nsonga y'okugoba Full Figure ne banne, yagambye nti, abantu bonna abaggyiddwaako babadde bavuma abantu, okupangirira omuwendo gw'abantu ababagoberera, okwefuula kye batali n'okuyingira ebibanja ebitali byabwe.
Museveni yagambye nti, Uganda tekyayinza kukkiriza Bazungu kugisalirawo ani mukyamu oba mutuufu ku nsonga yonna. Yagambye nti, tebamanyi bulungi bigenda mu maaso mu ggwanga lyaffe n'olwekyo basooke bazuule nga tebanasinziira eyo kutulagira.
Yategeezezza nti ebimu ku bifudde Uganda ey'amaanyi bwe buwagizi bw'abantu abangi, ebyenfuna ebitambula obulungi n'okuwa omukisa buli muntu okukola nga buli kimu tekirekeddwa gavumenti. Yayongeddeko nti okuggyako enguzi, ate nga nayo yaakulwanyisibwa, ebisigadde biri bulungi.
Kwe kuba abagwiira naddala kkampuni ya ‘Facebook' amagezi nti, bw'eneeba eneekolera mu Uganda, erina okuba n'obwenkanya mu nzirukanya y'emirimu gyayo.
MUGENDE MULONDE TERI AJJA KUBATIISATIISA:
Pulezidenti Museveni era yagumizza abantu bonna okugenda okulonda kuba tewali ajja kubatiisatiisa. "Tulina obusobozi obwehhanga buli mbeera entono n'ennene. Ku ttaka oba oba mu bbanga. Tulina tekinologiya amala okukola ekyo n'olwekyo temuba na kutya kwonna. Mmaze okutuula n'abeebyokwerinda era buli kimu kijja kubeera bulungi" Bwatyo Museveni bwe yakaatirizza.
OKUBBA OBULULU MUSANGO GWA KULYAMU NSI LUKWE: Museveni yagambye nti, omuntu yenna ategeka okucanga akalulu n'okukabba ali mu kwesimira ntaana kuba ekyo tayinza na kukiwuliriza! ' Yabuuzizza: Kati ng'obba obululu ng'owangula nga naawe weeyogerako nti ozze kukolera bantu?
Ekyatutwala mu nsiko ne tulwana entalo nnyingi nga twagala akalulu k'abantu kabe n'omulamwa n'amakulu. Abalonzi beeguya beeguye n'obamatiza ne bakuwa akalulu so si kukabba. Ateera bw'okabba oba togenda kukolera bantu kuba oba omanyi nti, oluvannyuma lw'emyaka etaano era nja kuddamu nkabbe! Bwatyo Museveni bwe yeewuunyizza era n'alabula.
Yagambye nti, guno musango muloope gwennyini ogwokulyamu ensi yo olukwe era anaakwatibwa ajja kuba kyakulabirako nti yakoowa abacanga akalulu. Yayongeddeko nti buli muntu alina kukozesa kyuma mw'alina okussa olugalo lwe lusome ekinkumu olwo kiyambe okutaayiza abaagala okulonda omulundi ogusukka mu gumu oba mu kifo gye batalina kulondera.
Yalabudde abakungu b'akakiiko k'okulonda abamu be yagambye nti beekobaana n'abeesimbyewo ne babba obululu nga bawoza ebyuma tebikola n'alabula nti waakiri okulonda okuyimirizibwa mu kitundu ekyo naye ebyokuwoza ebyuma bifudde bakozeseemu endagamuntu nti tebikola ku kuba ezimu ku zo zaabicupuli.