Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ABAKUGU mu ddwaaliro ekkulu e Mulago batandise okugezesa eddagala eriwonya ssennyiga omukambwe erikoleddwa wano mu ggwanga, ne bayita abantu bonna abaakeberebwa ne bazuulwa nga balina obulwadde buno, abeetegefu okwenyigira mu kugezesa kuno.
Dr. Grace Nambatya Kyeyune y'akulembedde abakugu okuvumbula eddagala lino erikoleddwa mu by'obutonde ebya wano era omuntu yenna okumukkiriza okugezeserezebwako eddagala lino, alina okuba nga musajja oba mukazi akebeddwa ng'alina ssennyiga omukambwe ng'ali wakati w'emyaka 18 ne 70.
Omulimu guno gutuukiddwako nga bayita mu kakiiko aka Presidential Scientific Initiative on Epidemics (PRESIDE) era ekiwandiiko kye kaafulumizza kyalaze nti oyo yenna ayagala okwetaba mu kugezesa kuno asobola okukuba ku ssimu eno +256-782-404431 n'atuukirira omukwanaganya w'emirimu mu nteekateeka eno.
Akakiiko kaategeezezza nti eddagala lino lye batuumye UBV-01N liyise mu mitendera gyonna egyetaagisa egya ssaayansi ng'abakulembedde omulimu ba The Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI).Baakolaganidde wamu n'abakugu mu bitongole bya gavumenti eby'enjawulo ebya saayansi n'ebitali okulaba nga batuuka ku buwanguzi buno.
Polof. Moses Joloba, akulira School of Biomedical Sciences Makerere University College of Health sciences nga naye abadde ku mulimu gw'okuvumbula eddagala lino yategeezezza nti waliwo enjawulo wakati w'omuntu okugenda mu labalatole okunoonyereza ku ddagala erikoleddwa, n'omuntu omulala okugenda mu labalatole n'akola eddagala.
Abalala abeetabye mu mulimu guno kuliko; Bannasaayansi okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute, Minisitule y'ebyobulamu ng'ekolera wamu n'abakugu okuva e Makerere, Makerere University Lung Institute, Makerere University School of Public Health, eddwaaliro ekkulu e Mulago ne Presidential Scientific Initiative on Epidemics (PRESIDE).
Uganda w'etuukidde okugezesa eddagala lino, ng'okuva March 2020 abantu 39,188 abakwatiddwa ssennyiga omukambwe ng'abakyali mu malwaliro bali 433 n'abafudde 318. Akakiiko kaategeezezza nti okuva mu March 2020, pulezidenti yakulemberamu olutalo okulwanyisa Corona era okuyita mu nteekateeka ya PRESIDE, pulojekiti 23 ziteekeddwamu ssente nga bakolera wamu n'ebitongole ebirala. Nga April 2020, aba NCRI baayanja enteekateeka eri akakiiko okuleeta eddagala lino ery'obutonde.
Baawaayo enteekateeka yonna mu buwandiike n'ekakasibwa era ne baweebwa ssente okukola omulimu. Nga bakulemberwa Dr. Nambatya bakoze buteebalira okuvumbula eddagala lino, eriyambako okutumbula amaanyi g'omubiri mu kulwanyisa obulwadde, litta akawuka, lirwanyisa akawuka ne kalema okunafuya omubiri.
Eddagala lino bwe likakasibwa ligenda kukola ku mutendera gw'ensi yonna, kubanga liyisiddwa mu bitongole ebirambika omutindo okuli ekirondoola omutindo gw'eddagala (National Drug Authority (NDA), ekirondoola omutindo (Uganda National Bureau of Standards (UNBS) ne National Council for Science and Technology.