Thursday, January 21, 2021

Omuddo gwa kafumbe gugoba olusu

Omuddo gwa kafumbe gugoba olusu

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba anaaba oluusi weesanga ng'avuddemu akasu ako.

Denis Luwesi ow'e Gobero yategeezezza nti abantu bakozesa ebintu eby'enjawulo okulwanyisa olusu luno. Ssinga oba n'omuddo gwa kafumbe omusajja ajja kukuyamba mu kulwanyisa ekizibu kino.

Noga ebikoola obyekuuse nga ekyangwe buli lw'oba onaaba naddala ssinga okuuta mu bifo omuva olusu omuli enkwawa. Bw'oba ekyo tokisobodde buli ku makya yenga ebikoola bya kafumbe ng'akyaliko omusulo, omusajja ogende nga weeyisa mu nkwawa ne mu mbalakaso .

Kino kikole okumala ebbanga olusu ojja kuba olugemye

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts