Thursday, January 21, 2021

NUP ewangudde disitulikiti za Buganda

NUP ewangudde disitulikiti za Buganda

Bya KIZITO MUSOKE, PETER SSAAVA, EDITH NAMAYANJA, FLORENCE TUMUPENDE, JOHN BOSCO SSERUWU, DICKSON KULUMBA, JOANITA NAKATTE ne HENRY NSUBUGA

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti mu Buganda bwe bakulembeddemu e e Wakiso, Masaka City, Mityana, Mukono ne Luweero. Okufaanana nga bwe kyali mu kulonda Pulezidenti aba NUP bwe baawangula ebifo bya babaka ba Palamenti ebisinga ne Robert Kyagulanyi n'asinza obululu.

Lwanga Bwanika ng'alonda.

Eggulo tebyakyuseemu. E Wakiso okulonda tekwajjumbiddwa era ebitundu nga Nansana, Bweyogerere, Namulanda, Masuliita, Kakiri ne Wakiso obwedda abantu bajja musoolesoole okulonda. Kyokka kino tekyalobedde Matia Lwanga Bwanika owa NUP era abadde ssentebe wa disitulikiti eno okuwangula mu bifo ebisinga. Obwedda akubira waggulu Moses Mayanja owa NRM obwedda amuddirira.

Kibirango ow'e Luweero.

E LWENGO: Embiranye ey'amaanyi yabadde wakati wa Ibrahim Kitatta owa NRM ne Joseph Balikudembe owa NUP. Kitatta okusinga yakubidde waggulu mu konsitityuwensi ya Bukoto West ne Bukoto Mid West ate Balikudembe n'akyekola mu Bukoto Central.

We twagendedde mu kyapa nga tebannaba kulangirira muwanguzi naye Balikuddembe yabadde n'emikisa mingi. Abalala abaavuganyizza ye Christopher Ssensalire, Sadic Kanyonyi Mutebi ne Emmanuel Musinguzi.

Florence Namayanja.

MASAKA CITY: Florence Namayanja eyali omubaka wa Bukoto East owa NUP eyeesimbye ku bwameeya bwa Masaka City we twagendedde mu kyapa ng'obululu ayeza lweyo mu kulonda okutajjumbiddwa. Mu lwokaano yabaddemu ne Wills Mbabazi owa NRM, Charles Kabanda owa DP ne Emmanuel Lwasa atalina kibiina.

E MITYANA: Patrick Mugisha owa NUP yakubidde waggulu oluvannyuma lw'okuwangula amagombolola agasinga obungi okuli; Central Division, Busimbi Division, Ttamu division, Malangala, Kakindu, Malangala, zigoti ne Kakindu. Joseph Luzige owa NRM abadde ssentebe wa disitulikiti tebyamutambulidde bulungi.

Jimmy Kanabi ow'e w'e Lwengo. Buikwe ng'alonda.

E KASSA NDA: Kasirye Zimula owa DP eyabadde awagirwa aba People Power yawangudde amagombolola okwabadde Kassanda Town Council, Manyogaseka, Bukuya Town Council ne Bukuya Town Council . Ziyad Kalema owa NRM) obwedda y'agoberera ne Khalid Lubega gattako ne Godfrey Lubega .

E LUWEERO: Eno abavuganya baabadde mukaaga okuli Erastus Kibirango owa NUP, Uthman Jjuko Kamoga (NRM), Vicent Kalumba Ssebayiga Ggoli (IND), Dithan Mayanja Kikabi (IND), Rashidah Birungi ne Daniel Serubidde Semakula (IND). Kibirango yalondedde ku Malungu C/U P/S mu muluka gwe Kiteme- Bamunanika.

Joseph Balikuddembe ow'e Lwengo.

Abalonzi e Luweero nga bwekyabadde mu bitundu ebirala baabadde batono okusinzira ku muwendo gw'abo abaalonda mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti akaaliwo wiiki ewedde nga kano ekibiina kya NUP kyawangula ebifo byonna era Robert Kyagulanyi Ssentamu eyakwatira NUP ku Bwapulezidenti yawangula Yoweri Museveni owa NRM n'ebitundu 70.45 eby'obululu obwakubibwa.

Olunaku werwazibidde nga Kibirango akulembedde banne n'obululu obuwerera ddala era aba NUP baabadde bawaga okuddamu okuwangula NRM mu kitundu kino. E MPIGI Martin Ssejjemba NUP, yawangudde Claver Mutuluuza owa NRM ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ye Mpigi. Ssejjemba yawangudde amagombolola agasinga era abawagizi be baatandikiddewo okuyisa ebivvulu nga n'okulangirira tekunnaba.

E MUKONO Rev. Peter Bakaluba Mukasa owa NUP yabadde akyaleebya banne bwe baabadde bavuganya. Okulonda emisana kwabadde kutambudde bulungi, okuggyako olutalo olwabaluseewo wakati w'abenjuuyi zombi ezikuuma obululu bw'ab'ekibiina kya NUP abaasimbyewo Rev. Peter Bakaluba Mukasa n'aba Andrew Ssenyonga avuganya ku bwa nnamunigina ku bwa ssentebe bwa disitulikiti.

Akavuyo kaabadde mu kifo ekironderwamu e Seeta, Ssenyonga bwe yamaze okulonda n'asanga ku mpapula okuwandiikibwa ebivudde mu kulonda nga b'agenti ba NUP bataddeko emikono. Kino yakiyise kubba bululu era ekyaddiridde bawagizi kukubagana ab'enjuuyi zombi.

Poliisi eyakulembeddwamu akulira ebikwekweto ku poliisi y'e Seeta, Atwiine baalagudde empapula ezaabadde ziteereddwako emikono okuggyibwawo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts