Bya Madinah Ssebyala Abalwadde n'abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw'omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera okukwatibwa ssennyiga omukambwe.
Okuva mu November w'omwaka oguwedde okutuuka Obulamu kati ku bantu 1,350 abaakebereddwa ssennyiga omukambwe nga baggyibwako amalusu g'omu kamwa mu ddwaaliro lino, abasoba mu 83 be bazuuliddwa nga balwadde.
Abaazuulibwa n'obulwadde kwaliko n'abasawo. Dr. Anthony Kkonde akulira ebyobulamu ku lukiiko lw'ekibuga Mukono agamba nti gye buvuddeko waliwo omu ku basawo baabwe Omujjuzo mu ddwaaliro e Mukono gweraliikiriza okunumira wiiki nnamba omwana n'akoowa.
Wabula abasawo bantegeeza nti bagenda kunnongoosa misana ne bawa ensonga nti ekiro tebalongoosa kubanga tebalina basawo bamala era omukyala bw'abeera waakulongosebwa kiro bamuwa ebbaluwa emwongerayo e Kawempe ne Kawolo.
Akulira Woodi y'abembuto n'abaana Alex Naamala agamba nti eddwaaliro lino lissa essira ku bakyala basobole okuzaala obulungi. "Olunaku tufuna abeembuto abajja okunywa eddagala abasuka mu 300. Kyokka ekizibu nti abantu batwala obulwadde bwa ssennyiga omukambwe nga eky'okusaaga.
Kubanga bangi ebigobererwa okutangira obulwadde baabivaako omuli; okwewa amabanga, okunaaba mu ngalo n'okwambala obukookolo era twakifuula tteeka nti atakambdde tetumujjanjaba. Kyokka okwewa amabanga kwe kusoomoozebwa okusinga kubanga ekifo kifunda ate abakyala bangi.
Musawo Naamala agamba nti baagala Gavumenti ebongere ku muwendo gw'abasawo mu waadi yaabwe. Mu kiseera kino balina abasawo 5 nga batono ddala ate olw'obulwadde bwa ssennyiga omukambwe, abayizi abasoma obusawo abajjanga ku ddwaaliro okwegezaamu baayimirizibwa.
"Ekirala naffe ng'abasawo twagala batuweeyo akasiimo nga kino kijja kutuzzaamu amaanyi. Dr. Christopher Bingi omu ku basawo ku ddwaaliro lino agamba nti wadde eddwaaliro lyasuumusibwa okuva ku Health Centre lV okufuuka eddwaaliro erijjuvu, bino biri mu bigambo kubanga ku basawo 9 abalina okubaawo, balina 4 bokka.
Ebikozesebwa mu kutangira ssennyiga omukambwe mu basawo kikyali kizibu ate omujjuzo gulemesa abasawo n'abalwadde okwewa amabanga. Eddwaaliro teririna ambyulensi esobola kwongerayo balwadde abeetaaga kufuna obujjanjabi obusingako nga balina mmotoka ya Double Cabin emaze emyaka 15, gye bakozesa emirimu gyonna.
"Twetaaga ambyulensi esobola okutambuza abalwadde abayi, ebyuma ebikebera okuzuula obulwadde obuluma omuntu ebya X-rays, eddwaaliro teribirina ng'ababeera balina okukeberebwa babasindika mu malwaliro amalala nga n'abamu bagenda mu g'obwannannyini.
EBYOBUFUZI BIREMESEZZA OBUJJANJABI OKUTUUKA KU BALWADDE Dr. Kkonde agamba nti, ebyobufuzi ebiyingidde mu mpeereza y'eddwaaliro ye kanaaluzaala alemesezza abasawo okutuusa empereza ematiza eri abalwadde.
Kiva ku boobuyinza mu disitulikiti y'e Mukono okwagala okwezza obuvunaanyizibwa bw'eddwaaliro ate nga munisipaali be bannannyini kubanga mu mateeka alina ekyapa ye Asiika (amannya galekeddwa) eyafuna ssennyiga omukambwe.
Baamuddusa mu ddwaaliro e Mengo okufuna obujjanjabi kyokka olw'obuseere bw'eddagala ab'e Mengo baamukwatirayo nga baagala asooke asasule ebbanja lya 1,200,000/- ezaali ez'obujjanjabi. Ebbanja nga balimazeeyo baamutwala e Mulago kyokka nayo tebyali byangu nga baamusaba obukadde obusoba mu busatu era nayo ne bamukwattirayo kyokka abooluganda ne minisitule y'ebyobulamu ne babiyingiramu ne bamusasulirako ku ssente nga kati yawona wadde nga tannadda ku mulimu.
Waliwo n'abasawo abalala abalwadde ba ssennyiga omukambwe nga mu kiseera kino bafuna obujjanjabi mu malwaliro ag'enjawulo.
EMBEERA MU DDWAALIRO LINO Ennaku bbiri omusasi ze yamaze ku ddwaaliro lino yakizudde nti omujjuzo mungi naddala.ku waadi y'abakyala abeembuto abagenda okubateekateeka okuzaala obulungi Enkola ya Tonsemberera bagivaako. Ekifo kyonna kijjudde nga n'entebe kwe batuula ntono era abamu obasanga bayimiridde.
Tewali mabanga olwa balina embuto abali wakati 600 ne 700 eddwaaliro lino okunywa eddagala ate abamu bagendayo kuzaala. Waliwo abava e Bweyogerere, Kireka mu Wakiso nabo ne bagenda mu ddwaaliro lino.
ABALWADDE N'ABAJJANJABI BOOGEDDE: Diana Atukunda, 23 omuyizi mu Yunivasite y'e Kyambogo agamba nti: Nze omu ku bayizi abaafuna embuto mu muggalo gwa Covid 19 nga nnina omwana wa myezi esatu.
Leero ndi wano ku ddwaaliro e Mukono we nazaalira omwana wange nga nzize okuwerekerako muto wange naye eyafuna olubuto nga yali amaze S4, nga muyizi munne ye yalumufunyisa. Okuzaala omwana wange bannongoosa oluvannyuma lw'olubuto nnannyini, ekintu ekitulemeseza okufuna ssente z'okugula eddagala ezimala.
Omwaka tufuna eddagala lya bukadde 102 eddagala lino ttono, Tusaba Gavumenti omwaka ogujja etuwe ssente ezimala ez'okugula eddagala n'ebikozesebwa ebiddukanya eddwaaliro.