PULEZIDENTI Joe Biden alayidde n'aggyawo amateeka mangi abadde Pulezidenti, Donald Trump ge yateekawo mu myaka ena emabega.
Mu gano mulimu okuddiriza ku nnatti z'obutuuze bwa Amerika n'okuzzaawo amateeka agabadde gongera okwonoona obutonde bw'ensi.
Bino yabikoze eggulo olwamaze okulayira n'ayingira amaka ga White House ne mukyala we Dr. Jill Biden ku mukolo ogwabadde ogw'essanyu n'ebyafaayo.
Omumyuka we, Kamala Harris ne bba Douglas Craig Emhoff ssaako Barack Obama ne mukyala we Michelle Obama nabo baabaddewo. Abaaliko Bapulezidenti ba Amerika baabaddewo ng'oggyeeko Jimmy Carter eyabadde omugonvu ne Trump eyagenze mu byafaayo nga Pulezidenti owookuna eyeepenye okwetaba ku mukolo gw'okulayiza amudidde mu bigere.
Mu kwogera, Biden yagambye nti, leero lukulu anti demokulasi wa Amerika azzeewo.'
Yeebazizza abalonzi n'abasuubiza okulwanyisa corona azzeewo ebyenfuna eby'amaanyi abantu bafune akasente akamala nga bwe gwabeeranga mu Amerika.
Yalayidde obutakola bya Trump ng'agezaako okweremeza mu buyinza n'asuubiza okuzzaawo ekitiibwa kya Amerika ekiri mu matigga.
EMIKOLO BWE GYATAMBUDDE:
Emikolo gyatandise ku ssaawa bbiri n'eddakiika 45 ku makya n'akalombolombo ka Pulezidenti n'omumyuka we okusabira mu Lutikko ya St. Matthew the Apostle mu Washington.
Ku ssaawa 4:30, Biden n'omumyuka we, Kamala Harris baatuuse ku Palamenti, (Capitol Hill) okulayira ne kutandika ssaawa 5:15 ne kuggwa ku ssaawa 6:00 Biden n'ayogera eri eggwanga ng'alaga by'atandikirako.
BAGENDA KU MALAALO
Biden yaganzise ekimuli ku malaalo g'abajaasi ba Amerika abaafiira mu ntalo olwo n'agenda mu maka g'Obwapulezidenti aga White House mu ofiisi emanyiddwanga Oval Office n'atandikirawo okussa emikono ku biwandiiko ebiggyawo agamu ku mateeka aganyiga bannansi Trump ge yassaawo nga tabeebuuzizzaako.
Omwo mwabaddemu okuddiriza nnatti ku by'obutuuze n'okutumbula eby'obutonde bw'ensi. Biden yayisizza n'etteeka lya buli Mumerika n'abagenyi okwambala masiki buli lwe babeera mu bantu okutangira corona Trump gw'abadde atwala ng'owolusaago.
ABAYIMBI BACAMUDDE ABANTU
Abayimbi Lady Gaga ne Jennifer Lopez baacamudde omukolo n'abaabadde ku ttivvi ne bazinira awaka. Biden yalangiridde obuwumbi 1900 eza ddoola okulwanyisa corona.
Amagye baayiye 25,000 era lw'abagenyi abatono abaabadde ku mukolo olw'ebyokwerinda n'okwewala COVID-19, kumpi buli mugenyi yabadde n'abakuumi nga bataano.
Mmeeya w'ekibuga Washington, Muriel Bowser yassaawo omuggalo okuva abawagizi ba Trump lwe beekalakaasiza ku Palamenti era ekibuga kyabaddemu abantu batono.
Ekibuga kyayakaayakanye olw'amataala agaatimbiddwa ne bendera. Ekizimbe kimu kyokka ekya National Mall kyatimbiddwa bendera 191,500 n'empagi zaakyo 56 nga zaaka mataala agakyusa langi na ddala eza DP eyawangula kalulu.
Ebizimbe bya Gavumenti mu masaza gonna 50 byatimbiddwa mu ngeri y'emu n'ebide nga bivugirako okufuula omukolo ogw'ekijukizo n'okukakasa Abamerika abangi abaataagubaddeko nti bafunye Pulezidenti mupya.
Thursday, January 21, 2021
Okulayiza Pulezidenti wa Amerika
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...