OMUYIMBI Geosteady ng'amanya amatuufu ye George Kigozi asiraamuse kati ye Hassan Kigozi era ne bamutooza ne Shahaduh n'akakasa mu bigambo bye nti avudde mu bukatulikiti kati musiraamu.
Geostady bw'abeera nga kituufu asiraamukidde ddala kigenda kutwalira abantu bangi ekiseera okukakasa kubanga abayimbi bangi okuli ne Jose Chameleon yasiramukako e Kibuli mu muzikiti neyetuuma Gadafi ate oluvannyuma naddayo mu bukatuliki.
Omuyimbi ono yakedde kugenda ku mukolo gw'okugulawo ekizimbe kya UK Mall e Kasanga mu Makindye natuukayo n'asanga ng'omugagga Umar Katongole yataddeko n'omuzikiti omwaliro mulamba era nga basoossewo na dduwa eyakulembeddwamu Supreme Mufuti Kasule Ndirangwa ne mukyamula era nawanika omukono nti asiraamusse.
Ndirangwa yamukwasizza amyuka disitulikiti Khadi wa Kampala Sheik Ibrahim Ntanda eyamudinganye emirundi egisukka mu kkuumi okwatula oba asiraamusse n'akakkasa nti kituufu era ne bamutoza ne shahaduh namusaba yelondere erinnya nalondawo erya "Hassan" nga kati ayitiibwa Hassan Kigozi so ssi George Kigozi.
Shiek Ntanda yategeezezza bannamawulire nti Allah tazannyirwaku kubanga ye nannyini buli kimu era Geostady alina okumanya nti talina kuba ng'abadde abazannyisa kutuukiriza bigendererwabye nga tasiraamusiramukidde ddala kubanga Allah asobola okumubonereza ate natakyaggala.
Shiek Ntanda yawadde omuyimbi Eddie Kenzo Musuza bwebabadde ne Geostady mu muzikiti okutwala obuvunaanyizibwa amufunire ba Shiek ku kyalo abamaanyi bamuyigirize obusiraamu kubanga buli omu ayiga buyige era nagamba nti bwekiba kituufu nga tali mu katemba bagya kufuba nnyo okulaba nga yeyagalira mu ddiini eno. Abagagga bamusondedde ekanzu y'obusiraamu empya ya ddoola 1000. Ezawano 3,700,000/=
Ye Geostady yategezezza nti okusiraamuka akikoze mukwagala kubanga buli muntu alina eddembe ku ndowooza ye ku kyayagala wabula kyakakkasa nti kati ye bafusse dda musiraamu era okuva ne leero bampita Hassan Kigozi.