PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye nti Kaggwa akoze omulimu munene okubunyisa eddiini n'okufaayo ku nsonga ezikwata ku bakkiriza.
Obubaka buno Paapa yabuyisizza mu mubaka we mu Uganda, Luigi Bianco mu kukungubagira omugenzi okwabadde ku Lutikko e Lubaga ku Lwokutaano.
Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Cypriano Kizito Lwanga eyakulembeddemu Mmisa yagambye nti omusumba yafudde corona eyamukwata mu biseera bya Ssekukkulu era abadde amuwuliza ku ssimu n'okumuweereza obuyambi bw'obujjanjabi e Mulago. Yamwogeddeko ng'abadde ayagala ennyo obumu, okwagalana, obwetoowaze era asonyiwa.
Yawadde ekyokulabirako ky'abaserikale abaamukuba ttiyagaasi e Mityana ku mikolo gy'abeekika ky'e Mbogo n'agamba nti bweyayogerako naye yamukakasa nti yamusonyiye ate nga yali akitegeeza.
Lwanga yeebazizza abasawo abafubye okujjanjaba Kaggwa n'abo abaamuweerezza essaala yadde byonna gye biggweeredde ng'afudde.
Mu Mmisa, omulambo gwa Kaggwa tegwaleeteddwa olw'amateeka ga Corona agatakkiriza kusemberera mulambo oba omulwadde era mu Klezia baaleeseeyo kifaananyi kye. Kyassiddwa mu kifo ekirabika obulungi mu Klezia olwo ne kyebulungululwa n'ebimuli n'emisubbaawa obwedda ebyaka nga mmisa esomwa.
Abeetabye mu mmisa eno kwabaddeko Omusumba w'essaza ly'e Lugazi eyawummula
Mathias Ssekamaanya, ow'e Lugazi, Christopher Kakooza ne bannaddiini abalala. Essaza ly'e Masaka, Kaggwa gy'abadde asumba lyakiiririddwa Cansala Edward Sekabanja.
Gavumenti yakiikiriddwa minisita w'eby'enjigiriza ebyawaggulu, JC Muyingo ate Mengo n'ekiikirirwa omumyuka wa Katikkiro asooka Wagwa Nsibirwa.
Bp. Kaggwa okugenda e Mulago okumukebera Corona ye yavuga emmotoka, oluvannyuma lw'okubeera n'abantu abaazuulibwamu obulwadde buno.
Dr. Gerlad Makumbi, muganda w'omusumba Kaggwa yagambye nti ye yasikira kitaawe era baakutuula nga ffamiire nga bakolaganira wamu n'Eklezia okulaba nga batambuze emikolo gy'okukwasa omuntu omulala ekifundikwa.
Source