Tuesday, January 26, 2021

Poliisi by'esazeewo ku kuva mu maka ga Kyagulanyi

Poliisi by'esazeewo ku kuva mu maka ga Kyagulanyi

Bya ALICE NAMUTEBI                                                                                                                                                       POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagambye nti, bagenda baakusigala nga bamutaddeko eriiso ejjogi era singa anaakwatibwa mu kikolwa ekimenya amateeka, waakuvunaanibwa.

Poliisi by'esazeewo ku kuva mu maka ga Kyagulanyi.

Eggulo, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Michael Elubu, yasaze omusango balooya ba Robert Kyagulanyi Ssentamu gwe baaloopa Gavumenti n'ebitongole by'ebyokwerinda okusibira omuntu waabwe awaka awatali musango.

Omulamuzi mu nsala ye, yanenyezza ebitongole by'ebyokwerinda okuggalira Kyagulanyi mu maka ge n'agamba nti, bw'aba alina omusango, bayite mu makubo amatuufu bamutwale mu kkooti. Yagasseeko nti, amaka ga Kyagulanyi si kkomera era si kaduukulu ka poliisi ssemateeka by'alambika okusibiramu abazzizza emisango n'alagira abaserikale abaateekebwayo baggyibwe ewa Kyagulanyi aweebwe eddembe lye okwetaayiza mu nsi ye.

Bannamateeka ba Kyagulanyi baalaze okutya nti, wadde kkooti ewadde ekiragiro, poliisi y'erina okukiteeka mu nkola ate nga mu kiseera kye kimu, gye bavunaana ne bagamba nti, eyinza obutavaayo. Steven Ssenkeezi omu ku bannamateeka yagambye nti, ekirina okukolebwa kutwala kiragiro kino eri abakulira eby'amateeka mu poliisi ne UPDF ssaako atwala poliisi y'e Magere okuggyawo ebyekwaso nti tebaafuna kiragiro bwe balema okukiteeka mu nkola olwo baggulweko emisango ng'abantu.

Wabula Enanga yagambye nti, "Ng'ekitongole ekigoberera n'okukwasisa amateeka tufunye ensala okuva mu kkooti enkulu yadde tetunnafuna kkopi mu butongole abaserikale baffe ababadde e Magere tubaggyeeyo naye ne Kyagulanyi agoberere amateeka era bw'anagaana tujja kumuvunaana."

Yagambye nti poliisi okusibira Kyagulanyi awaka nga January 15, baafuna amawulire nti yalina entekateeka z'okwekalakaasa n'okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka ng'okulonda kuwedde. Yayongeddeko nti, tebalina nteekateeka ya kumulemesa kutambula n'okukola emirimu gye kasita teyeenyigire mu bikolwa bya bumenyi bw'amateeka.

Abeebyokwerinda baagaana Kyagulanyi ne mukyala we Barbie Itungo okufuluma awaka nga January 15 n'abagenyi bonna ne babagaana okubalaba nga muno mwe mwali n'omubaka wa Amerika mu Uganda, Natalie E. Brown, bannamateeka, bannabyabufuzi okuli Lt. Gen. Henry Tumukunde, abawagizi ba NUP n'abalala ekyawaliriza bannamateeka okwekubira enduulu mu kkooti.

Abaserikale ba poliisi n'ab'amagye bayiibwa okuva ku kkubo erikyama ewa Kyagulanyi e Magere ku Freedom Avenue okutuuka ku ggeeti y'ekikomera kya Kyagulanyi nga tebaganya muntu yenna atuukawo. Omuduumizi w'ebikwekweto bya poliisi AIGP Edward Ochom yasooka kusaba kkooti bw'eba ya kukkiriza Kyagulanyi okutambula, emuteekeko obukwaKkulizo kubanga yali ateeka obulamu bw'abantu abalala mu matigga g'okukwatibwa obulwadde bwa Corona.

Kyokka, omulamuzi Elubu bwe yabadde awa ensala ye, yagaanye okuteeka akakwakkulizo konna ku Kyagulanyi n'agamba nti, poliisi bw'eba emulinako emisango egyekuusa ku kusaasaanya Corona, emutwale mu kkooti omulamuzi anabeera mu musango asalewo oba asindikibwa mu kkomera oba nedda. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts