Sunday, January 31, 2021

'Taata ne maama ono ye mukyala gwe nonze mu bangi'

'Taata ne maama ono ye mukyala gwe nonze mu bangi'

BYA MOSES LEMISA

MUTABANI w'omusumba Jackson ssenyonga alonze muwala w'omusumba Godfrey Luwagga n'amwanjulira bazadde be nti gw'agenda okuwasa.

Ssennyonga ng'ayaniriza muwala we.

Omusumba Jackson Ssenyonga ne mukyala we Eva Ssenyonga  aba Christian Life Church e Makerere Kavule baabuganye essanyu  mutabaani  Joshua Ssenyonga 25 bwe yabanjulidde Joan Luwagga 23  muwala w'omusumba Godfrey Luwagga ne Sylvia Luwagga n'abategeezza nti ono gw'alonze mu bangi ng'era essaawa yonna ajja kugenda mu bazadde be amwanjuleyo oluvannyuma amunaanike empeta.

Joshua ng'anaanika Joan empeta.

Joshua okwanjulira bazadde be omukyala yabadde ku mukolo gw'okujaguzza okuweza omwaka gumu ng'ali mu kisaawe ky'okubuulira enjiri. Omukolo gwetabiddwako Emmanuel Sserunjogi meeya w'e Kawempe era eyakalondebwa. Joshua ne Joan bombi babadde mu America gye baalabaganira.

Omusumba Ssennyonga ne mukyala we Eva baagamye nti mutabani  waabwe ye yeerondedde omukyala gwawulira nti ayagala ne basaba abazadde okukomya okulondera abaana  abaagalwa.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts