MUNKOLA y'okutumbula eby'enfuna ebyagotanyizibwa ekirwadde kya COVID 19 aba bbanka ya stanbic baleese enkola mwebanguyiriza bakasitoma baabwe okufuna looni. Enkola eno etuumiddwa ‘ Now Now loans' ekivunurwa ‘kati kati'...
Enkola eno yayanjuliddwa bannamawulire ku kitebe kya bbanka ya Stanbic bank ekisangibwa ku Crested Tower mu Kampala ku Mmande.
Grace Muliisa wa Bbanka ya Stanbic yategeezezza nti enkola ya looni eno yanjawulo nnyo kwezo ezibaddewo ng'omuntu okugiganyulwamu alina kusooka kubeera ku yintanenti ng'akozesa kkomputa oba essimu.
Yategeezezza nti enkola eno erina ebibaala bingi olw'omuwendo omutono ogugibwako ogwebitundu 15.9% nga zino ssente ziyamba abeeera agifunye singa abeera yetaaga obujanjabi ng'agudde ku kabenje..
Muliisa yagambye nti enkola eno yakweyafunwa nga bayita ku mutimbagano gwa yintaneti okwanguyiza bakasitoma nga bagifunira mu budde nategeeza nti bagifuna tebagiddwaako ssente yonna.
" Tumanyi nti ekirwadde kya Covid 19 kiyisiza bubi bakasitoma baffe era bangi bakyayisibwa bubi olwekirwadde ng'abantu ebyenfuna byabwe bigotanye nga nabamu tebasobolakutukiriza byetaago byabwe ebyabulijjo nolwekyo nga bbanka tusazeewo okuyimirira awamu ne bakasitoma nga tubaletera enkola egenda okubayamba okuyimuka.
Jackson Emanzi nga naye wa bbanka ya Stanbic yategeezezza nti mu nkola ya ‘Now - Now loans' yakugasa bantu abafuna emisala , bakozi ba bizinensi nabalala abafuna omusaala ng'omuntu enkola eno okugiganyulwamu alina ku beera ng'ayungiddwa ku yintaneti oba enkola yokwewolera ku ssimu emanyiddwa nga' Mobile banking' nategeeza ng'enkola eno bweriko ekomo nga etandise leero nga yakukomekerezebwa ku may omwaka guno.