ABANTU balaze ebintu bye baagala gavumenti ekyuseemu nga balowooza nti bwe binaakyusibwa kyakubayamba okutumbula embeera zaabwe.
Beniditict Muhigo musuubuzi mu Kampala agamba nti gavumenti yeetaaga okuyamba abasuubuzi kubanga banyigiriziddwa olw'obulwadde bwa ssennyiga omukambwe ekiretedde bizinensi zaabwe okusaanawo .
Agamba nti obulwadde buno butaagudde bizinensi ezimu zigwiridde ddala nga tezikyasobola kudda ngulu ate endala emirimu tegikyatambula .
Agamba nti abasuubuzi beetaaga okuyambibwako gavumenti ng'ebawola ssente bazongere mu bizinensi zaabwe zisobole okudda engulu.
Rebecca Banula agamba nti ekibbattaka kyayitiridde . Naye tunyigiriziddwa ekiyittiridde olw'ekibbattaka ekyabalukawo mu ggwanga lyonna . Ekibbattaka kikyayisizza abakulembeze bangi ababadde batunuulira abantu babwe nga banyigirizibwa kyokka nga tebabafaako .
Abantu bangi basenguddwa ku ttaka lyabwe nga basigadde mu bbanga . Abantu abadde balina poloti zaabwe n'ebibanja babagobyeko ng'abamu basigadde na buwunjukira abalala bali mu bbanga. Kati twagala kino kikolebweko gavumenti mu bwangu abantu baleme kusindiikirizibwa .
Fatumah Nandutu: Ebyenjigiriza kikulu mu ggwanga era pulezidenti bw'agamba nti agenda kulondoola abaana basome nga tebasasula nga tekikomye mu bigambo tugenda kuganyulwamu mu nkola eno kubanga ffenna twagala abaana baffe okusoma kyokka batulemeredde kubanga tetulina busobozi bwa bisale by'amasomero .
Yadde pulezidenti yagamba nti abaana baffe tebasasula bisale naye tetwaganyulwamu kubanga ebyetaago ebimu bisinga atutte omwana mu ssomero ery'a bulijjo n'osasulaebisale. Ekirala gavumenti esaanye okutunuulira omutindo gw'amasomero ga gavumenti ogwagwira ddala ng'abaana bafffe tubatwalayo kutuukiriza mukolo nti bavudde awaka.
Matridah Nabasirye :Endwadde zituttira mu mayumba olw'embeera embi eri mu malwaliro . Abantu bangi balwadde naye tebafuna bujjanjabi bwetaagisa mu malwaliro ga gavumenti .
Nnina ekizimba mu kiwanga nga mmaze nakyo emyaka esatu ng'abasawo bansaba obukadde busatu e Mulago okukirongoosa ze sirina nga nasigala mutwe kunnuma . Enkola y'amalwaliro yayonooneka kubanga buli kimu kyetaaga ssente okukikolako .
Abasawo tebafuna maanyi gatujjanjaba kubanga eby'emisaala gyabwe byakaluba. Mu malwaliro teri ddagala ng'olumu omuntu alemererwa n'okugendayo n'asigala mu nnyumba mwaba avundira okusinga okwonoona sente z'entambula . Kati njagala gavumenti erwanirire ebyobulamu .