Wednesday, February 17, 2021

Abasomesa ba yunivaasite za Gavt. omuli ne Makerere beediimye obutaddamu kusomesa

Abasomesa ba yunivaasite za Gavt. omuli ne Makerere beediimye obutaddamu kusomesa

Abasomesa mu yunivasite za gavumenti basazeewo okusa wansi ebikola nga baagala gavumenti emale okutuukiriza ekiragiro kya pulezidenti eky'okubongeza emisaala .

Okusoma mu yunivasite kuddamu nga  March 1, 2021 naye nga bano beesomye nga bwe batagenda kulinnya mu bibiina yadde okusomesa abayizi mu nkola ya 'online' okutuusa ng'okusaba kwabwe kukoleddwaako .

Mu lukungaana lw'abaamawulire lwe baatuuzizza ku yunivasite e Makerere, abasomesa bano abeegattira mu bibiina eby'enjawulo okuli ekya; MUASA n'ekya FASPU bannyonnyodde nti mu  2015 beekubira enduulu eri pulezidenti n'alagira bongezebwe omusaala ,wabula bapulofeesa bokka be baayongezebwa olwo bo abali ku mutendera gwa siniya lecturers n'okudda wansi ne basigala nga tebakoleddwaako .

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts