
Bya Patrick Tumwesigye
Wabaddewo akanyoolagano mu kifo ekironderwamu ekya Faith Trust Kawotto B mu Kajjansi Town Council abalonzi bwe balumirizza abakola ku by'okulondesa okulwawo okubaleetera eby'okulonda ate ne wabaawo n'abantu ababadde batandise okugabira abalonzi soda n'okubakuba obwama.

Abamu ku balonzi kino bakirabye nga okugezaako okubagulirira kubanga tewabadde nsonga eyinza kuleesa byakunywa.
Abantu ba Kajjansi Town Council leero lwe balonda Ssentebe waabwe ng'ekifo kino kiriko abantu bana abavuganya. Ku bano kuliko Bashir Kayondo owa NUP, Fred Kasenge NRM, Nelson Byekwaso owa DP ne Gift Filix Lwanga ng'ono talina kibiina. Wabula embiranye esinga eri wakati wa Kayondo owa NUP ne Byekwaso owa DP.
Faizal Ssebadduka Ssentebe wa Kajjansi B era nga y'akuliddemu okukuuma obululu mu Kitende ategeezezza nti ekikolwa kino tekibadde kirungi eri akakiiko k'ebyokulonda.