Tuesday, February 23, 2021

Ab'Enseenene batuuzizza ow'Essiga

Ab'Enseenene batuuzizza ow'Essiga

Bya Luke Kagiri

Kyaddaaki ab'ekika ky'Enseenebe batuuzizza ow'Essiga mu kika kyabwe oluvannyuma lwe bbanga nga tebamulina.
Omukolo gw'okutuuza ow'Essiga gwabadde ku kigwa kyabwe e Nsiisi, mu Ggombolola y'e Maanyi, mu Ssaza ly'e Busujju ng'era mu kusooka wabaddewo okutya nti abamu baabadde bajja kuguwakanya.
Charles Sserebe eyakuliddemu okutuuza ow'Essiga, yategeezezza nti Enseenene erina obuvunaanyizibwa bw'amaanyi mu Buganda kyokka ebadde n'okusoomoozebwa mu bukulembeze okumala ebbanga ddene. Omukolo guno gwakoleddwa mu ngeri y'obuwangwa, nga basoose kutuuza ow'Essiga Kironde Katimpa Kajubi, n'oluvannyuma ne bamukwasa ebikozesebwa nga Ddamula.

Baamututte mu bifo eby'enjawulo eby'obuwangwa e Nsiisi, nga bwe bamulambika bwe birina okukwatibwa.
Kironde ng'ayogerako n'ab'Enseenene, yabagumizza nga bw'ali omwetegefu okuweereza obulungi.
Yagambye nti, agenda kusookera ku kubagatta, olwo ekika kitambule bulungi.

"Okumala ebbanga tubadde nokusoomozebwa naye twebasa Ssabsajja Kabaka kubanga yasalawo ku nsonga zino era kati Ensene egenda kwongera okubeera obulungi," bwatyo bweyagambye. Yagaseeko nti, "Tuyina okubeera awamu era sigenda kusosola mu bantu bonna,".

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts