Monday, February 15, 2021

Bp. Kakooza atongozzaekigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa

Bp. Kakooza atongozzaekigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa




Ekigo kino ekiwezezza ebigo 28 ebikola essaza ly'e Lugazi kisangibwa ku kyalo Kituba mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono.

Bp. Kakooza ekigo kino yakitongozza ku Ssande wakati ku mukolo ogwabaddeko Abakristu ab'olubatu wakati mu kugoberera amateeka agafuga enkung'aana omuli obutatuuza abantu bangi, okwambala mmasiki n'okwewa amabanga.

Ono era yayanjulidde Abakristu bwanamukulu asookedde ddala ow'ekigo kino nga ye Rev. Fr. Denis Kibirige nga yategeezezza nti ono muvubuka muto ng'amaanyi ge gonna ag'ekivubuka agenda kugamalira wano. Fr. Kibirige agenda kumyukibwa Deacon Henry Wamala ng'ono agenda kuba afuna obufaaza omwezi gwa April 17.

Omwepisikoopi Kakooza mu kwogerakwe akalaatidde Abakristu b'eno okufuba okulaba nga bazimba klezia ennene obulungi egya mu kifo kino kye balimu kye yagambye nti kikuze nnyo nga n'olw'ekyo abantu beetaaga obuweereza bwa klezia okutuuka okumpi gye bali.

Yalaze ebisomesa ebigenda okukola ekigo kino omuli St. Andrew Kaggwa Kichwa, St. Atanansi Kateete, St. Charles Lwanga Kabembe Town, St. Jude Nama, St. Kizito Lutengo, St. Jude Waluga, St. Charles Lwanga Mpoma ne Buyuki.

Fr. Kibirige n'omumyukawe  Deacon Wamala beeeyanzizza obukulu obwabaweereddwa eri Bp. Kakooza ne basuubiza okukola ennyo okulaba nga batutumusa eddiini mu Bakristu.

Rev. Fr. Ignatius Ndawula nga ye Bwanamukulu w'ekigo ky'e Naggalama ekibadde kitwala Kichwa yalaze okunyolwa  olw'ebizibu bye bafumbekeddemu nga Klezia nga byava ku kirwadde kya COVID 19 omuli Abakristu abatakyayagala kugenda mu klezia kusoma mmisa nga baasigala waka nga beekwasa nti basomera ku leediyo nga bwe gwali mu muggalo wadde ng'amasinzizo gaggulwawo dda.

Fr. Ndawula  era yagambye nti batya n'okuwa amasakalementu omuli ne kusiigibwa kw'abalwadde nga batya nti oba oly'awo bano bayinza okuba ne COVID 19 olwo nabo ne babawereba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts