Bya Mukasa Kivumbi
EGGAALI y'omukka egudde mu luguudo wakati e Buikwe n'eruziba ekisannyalazza ebyentambula. Abakulira ekitongole ky'eggaali y'omukka batuuse ne basanga ttulakita egambibwa nti ye yabadde erima oluguudo n'eyiwa ettaka mu luguudo lw'eggaali y'omukka kye bagamba nti kye kyagiviiriddeko okugwa.
Bano baasangirizza eyabadde avuga ttulakita ng'ayongeramu amafuta okugenda okukola ne bamukwata ne bamulagira okuvuga ttulakita agitwale ku kitebe kyabwe e Kampala.
Akabenje kano kaaguddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri okumpi ddala n'ekibuga ky'e Buikwe ku luguudo oluva e Lugazi okugenda ku mwalo e Kiyindi.
Abakozesa oluguudo luno naddala aba mmotoka baasanze obuzibu nga mmotoka ezigenda ku mwalo tezirina we ziyita okuggyako nga zimaze kudda Nyenga ne zigwa e Najja ne ziryoka zidda e Kiyindi.
Omukungu w'eggaali y'omukka avunaanyizibwa ku ntambula yaayo, Abubaker Ochaki yagambye nti ebintu byabwe bingi byayonoonese n'enenya abaabadde balima oluguudo.
Baddereeva ba takisi abamu baagambye nti eby'okusaabaza abantu baabivuddeko ne basaba ebitongole by'ombi okwanguya omulimu gw'okusitulawo eggaali y'omukka baddemu okukola.