Okwambala obubi mu maaso g'abaana kibawa ekifaananyi ekibi. Shamim Nakanwagi ow'e Gayaza agamba nti abazadde b'abamu tebafaayo ku nnyambala yaabwe naddala nga bali awaka.
Taata n'asiiba awaka ng'ayambadde bokisa ne vesiti, oba ng'essaati tagisibye mapeesa, oba oluusi n'asiiba nga tagyambadde, olwo abaana ne balaba ekifuba kyonna nga kyetadde.
Oba maama n'asiiba mu kateeteeyi akampi nga bw'akutama akawale k'omunda kalabika. Omwana bw'alaba bino akula alowooza nti omuntu alina kubeera bw'ati, n'akitwala nti okwambala n'oggumira si nsonga nkulu.