Monday, February 15, 2021

Ffamire za be baakwata zikyasobeddwa

Ffamire za be baakwata zikyasobeddwa

FFAMIRE z'abantu abaakwatibwa abatannaba kuyimbulwa beeraliikirivu olw'obutamanya bantu baabwe gye bakuumirwa n'embeera mwe bali.

Baategeezezza nti wadde Pulezidenti yabagumizza nti ebitongole by'ebyokwerinda bye birina abantu baabwe, wabula ebibuuzo bingi bye baasigazza ku bantu baabwe.

Noor Namatovu 26, muka Abud Rashid Nkinga (eyawangula obwa ssentebe bwa Buwama Town Council ku kkaadi ya NUP naye ng'awangulira mu kkomera) yalaze obweraliikirivu olw'ebbanga eddene lye bamaze nga tebamanyi bikwata ku bantu baabwe.

Nkinga yakwatibwa n'omusuubuzi Ronald Mugerwa eyakazibwako AR, omusuubuzi wa Sipeeya Emmanuel Bazira ne Fred Kijjambu era bonna baabakwatira mu kabuga k'e Nabusanke nga banoonya akalulu nga January 6, 2021.

Ssentebe w'ekyalo ky'e Jjalamba Paul Ssaka yagambye nti ku kyalo kye baakwatako abantu bana okuli omusuubuzi Victor Makenya, Melito Mutebi, Willy ne mutabani wa Bwette nga bonna tebamanyiddwa gye bali.

Namatovu Muka Nkinga

Aba ffamire z'abantu abaakwatibwa e Kyotera ne Mpigi mu kwogera ne Bukedde eggulo baategeezezza nti baasigadde beebuuza ebintu bitaano ku bantu baabwe abaakwatibwa:

1. Abantu baabwe bakuumirwa mu bifo ki era lwaki tebakuumirwa mu makomera aga bulijjo agamanyiddwa.
2. Misango ki emituufu egivunaanibwa buli muntu kubanga abantu baabwe tekuli amanyi kituufu ku kyabakwasa.

3. Lwaki tebakkiriza balooya, abasawo n'aba ffamire okukyalira abantu baabwe mu bifo gye bakuumirwa
4. Abaakwatibwa batwalibwa ddi mu kkooti kubanga abamu bamaze emyezi kumpi ebiri nga tebamanyiddwa gye bali.
5. Abantu abasinga abazze bakwatibwa ne basibirwa mu bifo ebitamanyiddwa bagenda okuvaayo nga balina ebiwundu; bakakasa batya nti abaabwe gye baasibirwa tebatulugunya!

Namatovu yategeezezza Bukedde nti: Nnali nnakawere wa nnaku bbiri nga baakamala okunnongoosaamu bbebi ono, baze ne bamuwamba era okuva olwo tetuddangamu kumuwulizaako.

Bukira Muka Bazira.

Tusaba abantu baffe batwalibwe mu  kkooti bwe baba balina emisango gye bazza. Ffe tulowooza nti baabakwata lwa nsonga za byabufuzi kubanga baali ba NUP era abaali bavuganyiza ku kkaadi ya NRM mu kitundu kino baayunganga ebisango bingi ku bavuganyiza ku kkaadi ya NUP nga baagala bakwatibwe, kibawe enkizo okuwangula, kubanga tebaalina ffujjo lyonna oba okutiisa omuntu yenna kwe beenyigirangamu.

Harriet Bukirwa 31, mukazi wa Emmanuel Bazira yategeezezza nti bba yakwatibwa abaserikale abaali mu ngoye enzirugavu bwe yali agenze mu lukiiko lw'okukuuma akalulu ka bannakibiina kya NUP.

Bukirwa yagambye nti: Nze okuva lwe nnawulidde ebigambo bya Pulezidenti Museveni ng'akakasa nti abantu bonna be babalina ne nfuna essuubi; kyokka ate nnafunye okwekengera nti oba oli awo, omwami wange bayinza okumusibako emisango eminene gy'atamanyiiko kubanga Pulezidenti obwedda awamu aboogerako ng'abatujju ate ng'ebyabakwasa byabufuzi, tewali kirala.

                  Nalukoola

MUNNAMATEEKA AWABUDDE
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti okwogera kwa Pulezidenti kwabuzeemu okuvumirira ebikolwa by'okukwata abantu ne basibirwa mu bifo ebitamanyiddwa era olumu ne batulugunyizibwa era ne batatwalibwa mu kkooti mu budde obw'essaawa ezitasukka 48 ssemateeka z'alagira ate nga n'olumu bayimbulwa nga tebatwaliddwa mu kkooti ekikakasa nti baba tebalina musango mulambulukufu gwabakwasisa.

Yagambye nti abantu b'omusibe balina okutegeezebwa amangu ddala nga yaakakwatibwa ne babategeeza abamukutte, ekimukwasizza ne w'akuumirwa.

Yagambye nti ebikolwa by'okusiba abantu obukookolo mu maaso nga bakwatibwa n'okubalumba amatumbi budde ne bamenya enziggi okubakwata bimenya mateeka.

Omukwate alina okutwalibwa mu kifo ekirambikiddwa mu mateeka era ddembe lya musibe okwogera ne Puliida we oba omusawo we bw'abeera aliko ekimuluma awamu n'okusisinkana abooluganda ate ekisinga obukulu mu byonna, omusibe tateekeddwa kutulugunyizibwa.

Ennyingo ya 24 eya Konsitityusoni egamba nti omusibe yenna talina kutulugunyizibwa ne bwe kibeera kiseera kya lutalo era etteeka lya ‘Prohibition and Prevention of Torture Act' lyongera akazito ku baserikale abatulugunya abantu kubanga basobola okuvunaanibwa ng'abantu.

Minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda, Mario Obiga Kania yagambye nti abantu abaakwatibwa, poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe bakyabanoonyerezaako era fayiro zaabwe nga ziwedde baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe; wabula abanaasangibwa nga tebalina buzibu bayimbulwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts